TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe balumirizza okunyaga ez'ekibiina poliisi emuwonyezza

Gwe balumirizza okunyaga ez'ekibiina poliisi emuwonyezza

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 10th April 2019

Bammemba olwafunye amawulire nga ssente zaabwe bwe zinyagiddwa abakulira ekibiina kino, kwe kunyweza Josephine Nalunkuuma agambibwa okuzibasolozaamu.

Bakyala00 703x422

Abamu ku bakyala abeegattira mu kibiina kya God's Grace Team e Kisaasi nga bagumbye ku ofiisi ya sentebe wa Kikulu, Ismail Bukenya Musisi.

ABAKYALA abawera nga 160 e Kisaasi abeegattira mu kibiina ekisonda n'okutereka ssente ekya God’s Grace Team bagudde ku mukazi omu ku bakulu be balumiriza okunyaga ssente zaabwe nga baagala ababuulire amayitire gaazo wabula poliisi n'ebeekengera n'ebamuggyako.

Bano oluvannyuma baagumbye ku poliisi e Kikaaya nga baagala kugajambula omusibe ono.

Kyaddiridde okufuna amawulire nga ssente zaabwe bwe zinyagiddwa abakulira ekibiina kino kwe kunyweza Josephine Nalunkuuma  agambibwa okuzibasolozaamu.

Abakyala  bano  baavudde mu bitundu bya Kisaasi okuli; Kikulu  ne Ddungu.  Poliisi y’e Kikaaya omukwate yamusibidde  mu kkomera lyayo.

Fatumah Nakitto omu ku bammemba b’ekibiina  kino yategeezezza nga  ssente zino  bwe zibadde  zibasoloozebwamu  oluvannyuma  lw’ennaku bbiri mu wiiki nga  buli mmemba abadde atandikira  ku 5,000/- n’okudda waggulu.  

Ssentebe wa Kikulu, Ismail Musisi yabayambyeko okuwandiikira kkooti ebbaluwa n’ategeeza nti ekibiina abadde takimanyiiko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...