TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta abasipesulo batandise okuwoza

Abagambibwa okutta abasipesulo batandise okuwoza

By SHAMIM NABUNNYA

Added 10th April 2019

Abagambibwa okutta abasipesulo batandise okuwoza

Hop2 703x422

ABAGAMBIBWA okutta abavuzi ba sipesulo mu Kampala baleeteddwa mu kkooti Enkulu wakati mu bukuumi obwamaanyi. Ku bavunaanibwa kuliko Anatoli Mugisha, Calvin Owino, Julius Musisi, Charles Lutaaya ne muganzi we Aidah Nanozi nga bano baleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu Jane Frances Abodo era omusango gwabwe ne gutandika okuwulirwa.

Oludda oluwaabi luleese abajulizi bana nga ku bano basatu be baawadde obujulizi nga kuno kubaddeko Asuman Kato owa UPDF, Edward Mukholi omuserikale wa poliisi, Badru Nyombi eyali akola ne Ahmed Ssebagala eyali omuvuzi wa takisi mu Kampala eyapagisibwa ne bamuttira e Lwamata mu Kiboga.

Omujulizi owookuna eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Nateete Asp. Mutatina teyalabiseeko wabula puliida w’oludda oluwaabi, Fatiya Nakafeero yategeezezza omulamuzi nti, Mutatina alina emirimu gye yagendako e Somalia nga mu kiseera kino kizibu okumufuna.

Abakwate bano beegaana omusango ogubavunaanibwa ogw’okutta omuntu ssaako n’obubbi.Basooka okuleetebwa mu kkooti nga March 18, ne beegaana omusango guno. Bano bavunaanibwa okutta Ahmed Ssebagala eyali omuvuzi wa takisi ku siteegi y’e Busega, Noordeen Nsubuga eyali omuvuzi wa sipesulo ku siteegi y’e Nateete ne bamutwalako emmotoka nnamba UAL 676J ne Charles Matovu gwe battira e Mityana ssaako n’okubba emmotoka zaabwe ng’omusango baaguzza mu 2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza