TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama Fiina asekeredde abamwerijjako ku bwa ssentebe bw'abasawo b'ekinnansi

Maama Fiina asekeredde abamwerijjako ku bwa ssentebe bw'abasawo b'ekinnansi

By Joseph Mutebi

Added 10th April 2019

Maama Fiina asekeredde abamwerijjako ku bwa ssentebe bw'abasawo b'ekinnansi

Mum1 703x422

Maama ng'ayanirizibwa mu mizira okuva eri abasawo abakung'aanide ku kisaawe e Wakiso

AKULIRA basawo b’ekinnansi mu ggwanga Sofia Namutebi Maama Fiina awadde abasawo b’ekinnansi n’abatabuzi  b’eddagala lino   bonna mu ggwanga amagezi  obutaddayo kukkiriza kubuzibwa buzibwa kw’ani mukulembeze waabwe era n’abagamba nti akyaliwo okulaba ng’abatuusa ku nkulaakulana mu kiseera kye banamala nga bakyamutaddemu obwesige.

“Obungi bw’abasawo obuli wano leero  n’omukwano  gwe mundaze ne mutindigga engendo okuva mu dsisitulikiti ez’enbjawulo mu ggwanga  n’abalala ne muva e Kenya n’e Rwanda kimpa obuvumu obusekereera abo abanerijjako  nti  muzannyira ku ngoma nenne” Bwatyo Maama Fiina bwategeezezza.

Bino Maama Fiina  abyogeredde ku kisaawe kya disitulikiti y’e Wakiso  olwaleero mu lukungaana lweyakubye olwetabiddwamu  nnamungi w’abasawo b'ekinnansi  nga mwe muli abalaguzi, abatabula eddagala n’abalutta nsozzi . Era nabakakakasa nti  kano  akaseera ke balimu sikakulwana ntalo kubanga abagezaako okumuwalampa talaba nsonga lwaki abamalirako ebiseera.

Nze ng’abakulira abasawo mwenna mu ggwanga mu kibiina ekibagatta  ekya “Joint Forum For Traditional Healers and Herbalist Association”  ekibampisizza leero kwekulaba butya omusawo yenna gyali amanya ebirungi ebiri mu tteeka  gavumenti  lyeyaleese okutufuga era ng’omusawo abadde atya nti bagenda kuggalawo esaabo lye kubanga teyasoma ekyo kikyamu.

“Wadde muyinza okubamu obutonotono obulumira tugenda kufuba okulaba nga twogera ne gavumenti ne pulezidenti Museveni yennyini alabe nga abutukyusiza naye kino tugenda kukikola nga tuli wamu era n’ebirungi  etteka byeririna bingi nnyo kubanga eddagala lyaffe ligenda kufuna akatale okwetolola ensi yonna nga bamaze okulikakkasa.

Ekirala yasabye ba ssentebe ba basawo mu disitulikiti zonna  okutandiika okuwandiisa abasawo babwe bonna era nga bwebakimala bewandiisi SACCO yabwe nga kino kiwedde bagenda kukola SACCO eyawamu mu bwangu ddala olwo bayite pulezidenti Museveni abateremu ku nsimbi ez’okwekulaakulanya bave mu kukola omulimu ogumu.

 Akulira okunoonyereza ku ddagala ly’e kinnansi mu ggwanga Dr Grace Nambatya Kyeyune awadde abasawo amagezi okumanya nti bwebanabeera baagala okufuna mu gavumenti bekwate Maama Fiina kubanga bo nga gavumenti gwe bamanyi era gwebakolagaana naye.

Abasabye okukomya okutema emiti mu bibbira ate ne basimba kalitunsi nga kino kigenda kuzza obutonde bwaffe emabega.

RDC w’e Wakiso Nnalongo  Rose Kirabira yasabye abasawo b’ekinnansi abamu okukomya okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga bamaze okulya ku bantu ssente ne babatuuma okussaddaka abantu nga bagenderera okubegobako.

Yagambye nti bo nga gavumenti bawagira nnyo Maama Fiina naye baagala akole kimu ayongeremu amaanyi asikeeyo n’abo abamwewagulako bamwegatteko olwo gavumenti eyanguyirwe  okukolagaana nabo nga bali wamu

Omukolo guno gwatandiise nakasiiki k’abasawo abasuze ku kisaawe kya disitulikiti kino e Wakiso eggulo era nga Maama Fiina yabatidde ente munana kwebalidde ekiro n’enkeera lwonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo