TOP

Famire bagiwadde obutwa bbebi n’afa

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2019

Famire bagiwadde obutwa bbebi n’afa

Lab2 703x422

Maama w’abaana Namubiru ng’ali ku kitanda.

OMUTEMU atannategeerekeka alungidde famire ya bantu bana obutwa mu nva ne buttirawo bbebi, abaabusimattuse ne batwalibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka. Bbebi eyafudde ye Lawrence Bugembe ow’emyezi mwenda gyokka.

Abalala abaatwaliddwa mu ddwaaliro e Nkozi nga bataawa ye; Catherine Nampiima 2, Vanessa Kisakye 12 ne nnyaabwe Nuur Namubiru. Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri e Teketwe mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi, omuntu ataategeerekese bwe yasooberedde famire ya Namubiru 30, n’alunga obutwa mu nva zebinyeebwa bye baalidde ekyeggulo n’abaana be basatu.

Bba wa Namubiru yasimattuse kubanga yabadde agenze Kampala. Namubiru n’abaana be baasuze bataawa kyokka zaabadde ziwera ssaawa nga 4:00 ez’oku makya baliraanwa ne balaba nga taggulawo kyokka nga bulijjo akeera kwe kugezaako okukonkona nga tebawulirayo kanyego. Baasazeewo ne bamenya oluggi ne basanga nga tewali asobola kwogera kyokka ng’ebbujje erisembayo obuto lyafudde dda.

Wano abatuuze baatemezza ku poliisi y’e Buwama kyokka baagenze okwekebejja abali obubi nga bavaamu ebyovu mu kamwa n’okuzimba embuto ekibaviiriddeko okutebereza nti baabawadde obutwa.

Poliisi y’e Buwama yatutte abalwadde mu ddwaaliro e Nkozi nga bataawa omulambo gwa bbebi ne gutwalibwa e Mulago okugwekebejja okuzuula ekika ky’obutwa obwaweereddwa famire eno. Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Buwama, Paul Nabende yagambye nti baasanze ebintu mu ntamu yenva zebinyeebwa aba famire ze baaliddeko nga byefaanaanyiriza obutwa.

OMUSAWO AKAKASIZZA OBUTWA Akulira abasawo b’eddwaaliro ly’e Nkozi, Harriet Baker Nalwoga akakasizza nti abalwadde baawereddwa butwa era bakyagezaako okububanuunamu. Ayongeddeko nti, abalwadde bakyali mu mbeera mbi naddala omwana ow’emyaka ebiri (Catherine Nampiima) atannadda ngulu okuva lwe baamututte mu ddwaaliro kyokka nga balwana okutaasa obulamu bwe.

Taata w’abaana bano Sikyomu Luyambi agamba nti abadde talina lutalo na muntu yenna ku kyalo ng’ate ne mukazi we Namubiru talina mpalana yonna era n’asaba poliisi ekole okunoonyereza bazuule ekituufu. N’agamba nti bwe baba baawereddwa butwa kimutabudde kubanga tatamanyi yakikoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...