TOP

Owa KCCA attiddwa mu bukambwe

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 11th April 2019

Owa KCCA attiddwa mu bukambwe

Kip2 703x422

OMUKOZI w'ekitongole kya KCCA amaze ennaku ssatu ng’abuze abehhandaze baguddewo ekigwo bwe basanze omulambo gwe mu ggwanika nga yatemuddwa. John Kibuuka 24, omutuuze w'e Gangu mu Kiziba Zooni ku lw’e Busaabala abadde akolera ekitongole kya KCCA.

Yabula ku Ssande wiiki ewedde okuva lwe yava ewuwe e Gangu ne watabaawo amanya makubo matuufu ge yakwata okutuuka omulambo gwe lwe guzuuliddwa mu ggwanika e Mulago.

Abooluganda be oluvannyuma lw'ennaku bbiri nga bamulindirira talabikako, baasazewo okutandika omuyiggo era baasoose kukuba ku ssimu ye nga kweri naye ng’evugira mu nnyumba ye. Baatandise okunoonya mu kitundu mu mikwano gye n'okugenda ku poliisi ez'enjawulo kyokka yonna nga tewali amanyi gy'ali.

Vincent Kajubi omu ku babadde bamunoonya ng’era y'abadde amusumba mu kkanisa ya Living Church of God esangibwa e Masajja, yategeezezza nti, oluvannyuma lw'okumunoonya n'abula baalagidde nnyina Sarah Nasinza okugenda ku poliisi ye Katwe. Wabula eno poliisi yagaanyi okuyingiza omusango gw'okubula mu kitabo ne babawa amagezi okugenda mu maaso n'okumunoonya.

Yagambye nti oluvannyuma lw'okulemesebwa ku poliisi y'e Katwe baasazewo okugenda ku poliisi ye Kibibi ne baggulawo omusango gw'okubula kw’omuntu waabwe ku fayiro nnamba SD:11/10/04/2019.

Kajubi yategeezezza nti nga bamaze okuggulawo omusango gw’okubula kwa Kibuuka waliwo omuserikale ku poliisi eno eyabawadde amagezi okwongera okunoonyaako ne mu ddwaaliro e Mulago nga basuubira nti ayinza okutomerwa mmotoka n'atwalibwayo. Nasinza maama w’omugenzi yategeezezza nga mu kunoonya omwana we bw'abadde n'essuubi ly’okumusanga nga mulamu.

Bwe baatuuse mu ggwanika okwongera okumunoony, omukozi omu ku ggwanika bwe baamulaze ekifaananyi n'ababuuza omuntu oyo bwe bamuyita kubanga ajjukira yabadde amulabye ku munda mu ggwanika.

Nasinza yayongeddeko nti olwabayingizza munda amaaso gaatuukidde ku mutabani we eyabadde ajjudde ebiwundu ku mutwe ne ku mikono nga kisuubirwa nga yatemuddwa butemulwa.

Oluvannyuma lw'okukakasa okufa kwa Kibuuka abooluganda baasazeewo okusooka okudda awaka okubika. Kibuuka mu KCCA abadde akola gwa kulima n'okulongoosa ebimuli okumala emyaka ebiri. Waakuziikibwa Mukono mu Nsonga ku luguudo lw'e Nkokonjeru ku Lwokuna (leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte