TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abali ku gw’okutta Kaweesi bagguddwaako emisango emiggya

Abali ku gw’okutta Kaweesi bagguddwaako emisango emiggya

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2019

Abali ku gw’okutta Kaweesi bagguddwaako emisango emiggya

Lab2 703x422

Abasibe Higenyi (wakati) ne Mbaziira ku mpingu nga batuusibwa ku kkooti e Mukono.

ABAVUNAANIBWA ogw’okutta Andrew Felix Kaweesi bagguddwaako emisango emirala mukaaga gyonna nga gyekuusa ku nsonga z’okukukusa abaana. Kiteeberezebwa nti baabagya mu disitulikiti ez’enjawulo ne babatwala mu bifo ebirala n’ekigendererwa eky’okubakozesa mu buyeekera.

Bino byabaddewo ku eggulo mu Kkooti eyeddaala erisooka e Mukono era ng’abavunaanibwa okuli Abdul Rashid Mbaziira ne Higenyi Noordin bamaze ebbanga kati lya myaka ebiri mu nkomyo.

Bateeberezebwa nti wakati wa 2016 ne 2017 mu disitulikiti okuli Busia, Mayuge, Bushenyi ne Mukono beekobaana okuwamba abaana abali wakati w’emyaka esatu n’omunaana okubayingiza mu by’obutujju.

Omulamuzi ow’eddaala erisooka mu kkooti e Mukono, Juliet Chasinga bwe yabadde abasomera emisango gino yabategeezezza nga bwe giri egya nnaggomola era nga kkooti ye, terina buyinza kugikolako n’abalagira okugitwala mu kkooti Enkulu bwe baba baagala okweyimirirwa.

Ono era yagaanye okukkiriza okusaba kwabwe kubanga bagenda kutwalibwa mu kkooti endala olwaleero ku Lwokuna okuwuliriza okweyimirirwa okulaba oba okusaba kwabwe kunakkirizibwa olw’amaanyi g’emisango egibavunaanibwa era omusango n’agwongerayo okutuusa nga 29 March 2019.

Ye Anthony Wameri okuva mu Wameri and CO Advocates puliida w’abakwate, yategeezezza nga bwe kimwewuunyisizza okulaba nti ate abantu be babagguddeko emisango emirala gy’abadde tasuubira era nga kino asuubira nti kikoleddwa n’ekigendererwa eky’obutayagala kubata.

Yayongeddeko nga kati bw’agenda okubakana n’eddimu ly’okubasabira okweyimirirwa buto, ku misango gino egyakabaggulwako n’ategeeza nga bw’alina essuubi ery’okubayimbula beewozeeko nga bava wabweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu