TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tetunnasalawo ku ky'okwegatta ku mukago gwa DP Bloc -JEMA

Tetunnasalawo ku ky'okwegatta ku mukago gwa DP Bloc -JEMA

By Ssennabulya Baagalayina

Added 11th April 2019

“Bobi Wine mukwano gwaffe era tutambudde naye bulungi naye ekyakoleddwa DP Bloc wadde twabaddeyo naye tetwataddeko mukono.”

Jeeama24 703x422

Hajji Kateregga (mu ssuuti wakati) mu kusoma dduwa y’omugenzi Hajji Musa Kiggundu ku kyalo Kisiwuula e Bukulula.

ABAKUNGU mu JEMA baatudde nti bo ng’ekibiina tebannasalawo kwegattira ddala mu mukago gwa DP Bloc nti bakyetegereza.   
 
Bawabudde n’abantu abakulu baveeyo balambike abavubuka abayimba okwebeereramu mu nzannya y’ebyobufuzi entuufu ssi kulwa ng’eggwanga balinnyika mu ddubi. 
 
“Nga JEMA tukkiririza mu kwegatta okw’okuleeta enkyukakyuka mu Uganda naye tetukkiririza mu bya kuyiwa musaayi,” bwe bakkaatirizza. 
 
Byayatuddwa Ssaabawandiisi wa JEMA era Ssentebe LCV e Bukomansimbi, Hajji Muhammad Kateregga n’omwogezi waakyo Noordeen Kyammundu.
Baasinzidde mu dduwa y’omugenzi Hajji Musa omu kubaatandika JEMA, ku kyalo Kisiwuula e Bukulula mu Kalungu.  
 
Sheikh Badiru Diin Jjumba yayatulidde JEMA nti wadde mu 1996, yakuliramu ebyokugiyiggira obululu n’efuna 5000 mu Kalungu ne pikipiki ya kitaawe n’ebbibwa nti naye yagyabuulira lwa butalondoola bawagizi baayo.
 
Hajji Kateregga yawabudde ab’omu byalo nti tebeesuulirayo gwa nnaggamba ku bujagalalo obubeera mu Kampala n’obubuga obulala nga beeyinula nti tebibakwatako. 
 
“Abavubuka abo “Batwebereremu” baana baffe, abateetaaga kuwuliza byaliwo mu ntalo za 1979 ne 81 kuba tebaaliwo, nga bwe tutaabalambike mu nkozesa y’olulimi tuyinza okukyejjusa,” Hajji Kateregga bwe yakkaatirizza.  N’agattako nti, “Bobi Wine mukwano gwaffe era tutambudde naye bulungi naye ekyakoleddwa DP Bloc wadde twabaddeyo naye tetwataddeko mukono,” Kateregga bwe yagumizza.
 
Ate omwogezi Kyammundu yagasseeko nti mu kiseera kino JEMA ekulemberwa Pulezidenti Asuman Basaalirwa beefunyiridde mu kuzuukusa buwagizi bwabwe mu bannakibiina. 
 
N’agamba nti tebalabikira nnyo mu kkamera naye basisinkana mu nkola ey’akamese tambula kuba bettanira enkyukakyuka mu ggwanga eziyise mu mirembe. 
Hajji Kateregga yawabudde n’Abasiraamu nti ebya baganda baabwe n’abaana ababonaabonera mu makomera, bibazibule amaaso nti NRM tebayisizza bulungi. 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...