TOP

Abalimi b'emmwanyi basambira waggulu nga jjanzi

By Scovia Babirye

Added 11th April 2019

Abalimi b'emmwanyi basambira waggulu nga jjanzi

Lab2 703x422

Minisita Bamulanzeeki Ssempijja ng'annyonnyola

MINISITULE y’obulimi n’obulunzi esse omukago n’ensi ya Vietnam okusobola okulinnyisa omutindo n’obungi bw’emmwaanyi ezirimwa mu Uganda.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire Minisita Vincent Bamulangaki Ssempijja, omukago guno gugendereddwaamu okwongera ku bungi bw’emmwanyi ezifuluma mu Uganda wamu n’okwongera ku mutindo Uganda esobole okuvuganya ku katale k’ensi yonna mu kutunda emmwanyi.

‘’Uganda kati efulumya ensawo z’emmwanyi  obukadde mukaaga naye omukago guno gugenda kutuyamba okweza obukadde 20 n’okudda waggulu  era abalimi b’emmwanyi balina okukomya okweraliikirira kuba enfuna yaabwe engenda kweyongera.’’Minisita bweyategeezezza.

Ayongerako nti enkolagana eno erimu okusomesa n’okuwanyisiganya abakugu n’emisomo egyenjawulo okulaba nti obulimi bw’emmwanyi bwanguyira bantu ate n’okutuuka ku mutendera Vietnam gweriko .

Agambye nti bakwongera okubangula abalimi b’emmwanyi okulaba nti buli mulimi abeera n’amaazi okufukirira emmwanyi so si kulinda nkuba ate n’okuyiga okukozesa ebigimusa kuba biyamba okwongera ku mutindo gw’emmwanyi.

Apollo Kamugisha okuva mu Uganda Coffee Development Authority asabye Gavumenti okwongera ssente mu mmwanyi nga bagula ebigimusa, amazzi, okunoonyereza wamu n’okukubiriza abantu okweyongera okulima emmwanyi olwo Uganda lwejja okusobola okuvuganya ku katale k’ensi yonna.

Ayongeddeko nti Gavumenti era esaana eyongere amaanyi mu kulwanisa abantu abatunda ebigimusa ebicupuli kuba biviirako okuddiriza omutindo gwemmwaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...