TOP

omwana omulala ku baaweereddwa obutwa afudde!

By Paddy Bukenya

Added 11th April 2019

Omwana omulala ku baaweereddwa obutwa afudde!

Kat2 703x422

OMWANA omulala owa famire gye bawadde obutwa afudde nga nyinina ne ne mukulu we bbo baliko kikuba mukono.

Famire ya bantu bataano gye baawadde obutwa bbebi omu n'afiirawo byeyongedde okugyononekera omwana omulala Catherine Nampiima myaka 2 bwafiiridde ku kitanda mu ddwaliro e Nkozi gyebatwaliddwa nga bali bubi.

Nampiima yaddusiddwa e Nkozi ne mukuluwe Vanessa Kisakye 12 ne nyaabwe Nuuru Namubiru 30 abatuuze be Teketwe mu gombolola ye Buwama mu Mpigi nga bali mu mbeera mbi nyo oluvanyuma lwokulya ebiteberezebwa okuba obutwa nga kigambibwa nti babubateze mu nva zaabwe ezebinyebwa zebalidde eky'eggulo.

Nampiima okufa kiddiridde okutwalibwa mu ddwaliro nga obutwa bwamubunye mu bitundubye ebyomunda era abasawo bagenze okulwana obukenenulamu nga takyasobola kussa era abadde asizza ku byuma.

Okusinziira ku akulira abasawo be Nkozi Harriet Baker Nalwoga ategeezezza nti Kisakye ne maama we Namubiru bakyali mu mbeera mbi wabula waliwo enkyukakyuka okusinziira ku mbeera mwebabatwaliddeyo era bakyalwana okutaasa obulamu bwabwe.

Taata wabaana bano Sikyomu Luyambi agambye nti mukaziwe emmere yagifumbidde mu nyumba ng'avudde ku mulimu mu kabuga ke Buwama ku mudaala gwenyanya zaatunda kyokka nti enva zebinyebwa zeyafumbidde ku mulimu emanju nga kyandiba nga zezavuddeko emberebezi kubanga abaana olwabadde okuziryako nebatandikirawo okukaaba nga benyoola.

Omwogezi wa poliisi mu Katonga Phillip Mukasa agambye nti poliisi tenabaako gwekwata ku ttemu lino kyokka nga bakyanonyereza omutemu eyakikoze nga bwebalinda ebiva mu kwekebejja emmere, obuugi nomugaati ebyatwaliddwa eMulago okwekebejjebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...