TOP

Muleete lipooti -Omulamuzi

By Edward Luyimbazi

Added 12th April 2019

Muleete lipooti -Omulamuzi

Lip2 703x422

OMULAMUZI, Ponsiano Odwori owa kkooti ento e Nakawa atabukidde omuwaabi wa gavumenti okulwawo okuleeta lipoota eraga oba ddala abasibe12 abali ku musango gw’obutujju ne Mariam Kasujja Namwandu wa Abdul Kateregga eyattibwa nga bamuteebereza okutta Afande Mohammed Kirumira oba batulugunyizibwa.

Omuwaabi wa gavumenti Christine Apoloti yanenyezeddwa olw’okulemwa okuleeta lipooti eraga engeri abasibe bano bwe batulugunyizibwa nga kkooti bwe yali emulagidde oluvannyuma lw’abasibe bano okwemulugunya eri kkooti.

Bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yategeezezza kkooti ng’okukebera abasibe bano ku byokubatulugunya bwe kyali kirina okukolebwa mu kkomera e Luzira kyokka n’okutuusa kati tebannakikola.

Wano omulamuzi Odwori yamutabukidde n’amugamba nti mu lutuula olwasembayo yategeeza kkooti nga bakwataganye ne Ssaabawolereza wa gavumenti okulaba nga baggulawo fayiro banoonyereze oba ddala abasibe bano batulugunyizibwa kyokka ate kati akyusizza bye yayogera.

Bwatyo yamulagidde akole ku kunoonyereza kuno alabe ng’afuna lipoota eno. Oluvannyuma lw’okwemulugunya kw’omulamuzi Apoloti yategeezezza kkooti nga fayiro y’omusango gw’obutujju oguvunaanibwa abasibe bano bwe yatwalibwa ewa Ssaabawaabi wa gavumenti okwongera okugyekeneenya era nga bakyalina okunoonyereza kwe bakyakola n’asaba kkooti eyongerayo okusomera abantu bano omusango guno.

Mu ngeri yeemu Sulaiman Senfuka omu basibe bano yategeezeza nti baamukwata okuva e Kazo -Angola ne bamutulugunyiriza mu bifo by’ataamanya era kati amaaso gamuluma takyalaba bulungi, amakaage gafa, abaana be tebasoma era bali mu maka ga ssentebe w’ekitundu ekyo kyokka bamutegeezezza nti nayo baagala kubagobayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.