TOP

Mad Tiger aleese ‘Life of the Legend’

By Musasi wa Bukedde

Added 12th April 2019

Mad Tiger aleese ‘Life of the Legend’

Top2 703x422

OMUYIMBI Yusuf Kavuma Luboyera amanyiddwa nga Mad Tiger oba Mtoto wa Africa ekivvulu kye yatuumye “Life of the Legend” kimutuuza bufoofofo.

Emyaka gyekulungudde nga Mad Tiger ategeka ekivvulu eky’ekika kino okulaga omukululo gw’abayimbi ba Uganda, omutindo, muziki wa Uganda w’atuuse n’ekiddako.

Okulaba ng’ekivvulu ky’omulundi guno kiba kya njawulo, asabuukuludde alubaamu y’ennyimba nnamba mu mwezi guno, okuli “Babeerayo eyo” olulaga enjawulo wakati w’omwavu n’omugagga, In Africa oluggyayo ekifaananyi ekituufu ekya Africa era ennyimba zino yazikoledde ne vidiyo.

Mad Tiger ayimbye ennyimba nga Obulamu bw’ensi bunyuma kiro, Ekyanjagaza owange, Mu Uganda tunywaki, Mawunde n’endala. Ali ku Monalisa Pub e Kabuusu nga April 19, 2019. Okuyingira 10,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...