TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Ebyewuunyisa ku Omar al-Bashir by'obadde tomanyi

Ebyewuunyisa ku Omar al-Bashir by'obadde tomanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2019

ABADDE Pulezidenti wa Sudan Omar al-Bashir Sudan yazuukuse eggulo ku Lwomutaano omulundi ogusookedde ddala mu myaka 30 nga muntu waabulijjo. Bashir alina ebyewuunyisa bingi omuli n’okubeera nga tewali amanyi mannya g’abazadde be era talina mwana ku nsi wadde ng’alina abakyala babiri.

Bashir1 703x422

Mukyala wa Bashir owookubiri Widad Babiker.

ABADDE Pulezidenti wa Sudan Omar al-Bashir Sudan yazuukuse eggulo ku Lwomutaano omulundi ogusookedde ddala mu myaka 30 nga muntu waabulijjo.

Obulamu obw’omuntu waabulijjo, Bashir 75 yabutandikidde mu kifo ekyekusifu amagye agaamuwambye gye gaamusibidde nga kigambibwa nti enteekateeka bwe zikolebwa okumuyisa mu mbeera efaananako nga bannamagye abaawamba Gavumenti ya Zimbabwe bwe baayisaamu musajjamukulu Robert Gabriel Mugabe 95 gwe baamumula mu buyinza mu 2017.

Ensonda mu bannamagye zaategeezezza nti, waliwio enteeseganya ezaatuukiddwaako, Bashir afune obukuumi n’okulabirirwa Gavumenti kyokka baamutaddeko obukwakkulizo obuteeyingiza mu byabufuzi n’eby’ekijaasi okuggyako nga mpozzi ayagala amagye gamuweeyo mu kkooti y’ensi yonna avunaanibwe emisango egy’ekitta abantu ekyali mu kitundu ky'e Darfur.

 ashir lwe yasisinkana aapa enedict Bashir lwe yasisinkana Paapa Benedict XVI

BASHIR Y'ANI?

Bashir alina ebyewuunyisa bingi omuli n’okubeera nga tewali amanyi mannya g’abazadde be era talina mwana ku nsi wadde ng’alina abakyala babiri.

Amannya ge mu bujjuvu ye Omar Hassan Ahmad al-Bashir 75, nga yazaalibwa January 7, 1944. Kyokka ekyewuunyisa tewali amanyi bazadde be wadde amannya gaabwe.

Obulamu bwe obw’obuntu tebumanyiddwa nnyo mu bantu. Bwe yaweza emyaka 50 n’asalawo okuwasa omukazi owookubiri.

 atima halid gwe yasooka okuwasa Fatima Khalid, gwe yasooka okuwasa

 

Yawasa Widad Babiker Omer eyali nnamwandu wa musajja we Ibrahim Shams al-Din eyali afiiridde mu kabenje k’ennyonyi mu lutalo olwali mu mambuka era n’akubiriza mikwano gye okuwasa bannamwandu b’abajaasi abaali bafiiridde mu lutalo basobole okubalabirira. Yasooka kuwasa Fatima Khalid.

Amagye yagayingira akyali muvubuka n’aggya ng’akuzibwa mu madaala era y’omu ku beetaba mu lutalo lwa 1973 ng’ali ku ludda lwa Misiri ng’erwanyisa Yisirayiri.

Yawamba obuyinza bwe yamaamulako eyali Katikkiro wa Sudan, Sadiq al-Mahdi nga June 30, 1989 n’afuuka ssentebe wa Revolutionary Command Council for National Salvation.

Bwe yanyweza obuyinza yafuba okulaba nga yeekuumirako obuyinza bwonna era yasookera ku kya kusattulula Palamenti, n’awera ebibiina byobufuzi n’okugaana amawulire obutaddamu kufulumya ebintu ebimuwunyira ziizi.

Ng’ali ne Hassan al Turabi eyali omukulmbeze wekibiina kya National Islamic Front, baatandika kaweefube w’okufuula Sudan ensi y’Abasiraamu era mu 1991 ne batongoza enfuga ya Sharia Law. Kyokka kino kyamuleetera obuzibu n’ekitundu ky’Obukiikakkono (kati South Sudan) ekyali kisingamu ab'enzikiriza y’Ekrisitaayo.

Mu October wa 1993 yasattulula olukiiko lwa Revolutionary Council n’alondebwa nga Pulezidenti wa Sudan. Oluvannyuma yategeka okulonda kwa bonna mu 1996 n’alondebwa ku Bwapulezidenti bw’eggwanga.

 bantu nga bajaganya namagye ageddizza obuyinza abula wosomera bino baayawukanye nga ba kigwo Abantu nga bajaganya n'amagye ageddizza obuyinza. Wabula w'osomera bino baayawukanye nga ba kigwo.

 



Buli lw'abadde alabika mu bantu ng’abeera n’omuggo ogutamuva mu ngalo abamu kye babadde banonooza nti, mwe muli obuyinza.

Mu njogera ye abadde ayogeza bukambwe era ng’eddoboozi lye likulagirawo omusajja emmekete ataseka era ataluma mu kigambo. Kino abadde takikomya mu bigambo kyokka ne mu bikolwa azze akyolesa ng’afufuggaza abalabe be abazze bamwahhanga mu bbanga ery'emyaka 30.

Ekyewuunyisa ku Bashir mu 2015 yategeka okulonda kwa Pulezidenti kwe yalangirirwa ng’omuwanguzi n’ebitundu 94 ku buli 100. Okulonda kuno ebibiina eby’amaanyi ebivuganya Gavumenti byagaana okukwetabamu nga bagamba nti baali tebakusuubiramu bwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...