TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Wuuno omuwala eyakulembedde olutalo lw’okuggyako Omar Bashir

Wuuno omuwala eyakulembedde olutalo lw’okuggyako Omar Bashir

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2019

WUUNO omuwala wa yunivasite Alaa Salah ow’emyaka 22 gyokka abadde atambulirwako okwekalaasa mu Sudan okwaviiriddeko amagye okuwamba Gavumenti ya Omar el-Bashir.

Muwala 703x422

Alaa Salah eyakulembedde okwekalakaasa. Alaa Salah ng’ayogera mu lukuhhaana olumu.

Abadde atambula buli wantu ng’akubiriza abantu naddala abakazi obuteesulirayo gwa naggamba mu lutalo lw’okununula eggwanga.

Gyabadde tatuuka ng’ekifaaananyi kye kituukayo ekibadde kitunda nga keeki eyokya.

Ekifaananyi ekyasembyeyo okumukubwa ku Mmande ng’ayogerera mu bikumi by’abantu kaabadde kabonero ka ssuubi mu Sudan n’okwetooloola ensi yonna ng’abantu bagamba nti olaba n’abakazi basitukiddemu tebalina kuzikiza muliro.

Ekifaananyi ekisinze okutunda kyamukubwa ayimiridde ku mmotoka waggulu mu nkuyanja y’abantu ng’asonze mu bbanga okubagumya nti ne Katonda ali nabo.

Buli muntu abadde amuwulira ng’aggyayo essimu y’omu ngalo ng’akwata ebigambo bye asobole okubiweereza abalala.

 bamu ku bakyala nga beekalakaasa Abamu ku bakyala nga beekalakaasa.

Salah eyafuuse omuzira w’eggwanga akyali muyizi wa yunivasite ng’asoma byakukuba pulaani z’amayumba n’obuzimbi. Bwe yabadde ayogera n’amawulire ga Guardian yalaze essanyu olw’okubeera ng’ekifaananyi kye kifuuse ensonga mu nsi yonna n’agattako nti;

“Ndi musanyufu nti ekifaananyi kyange kyeyambisiddwa okumanyisa ensi yonna ekiri mu Sudan. Okuva okwekalakaasa lwe kwatandika mbadde ntambula buli lunaku nga nkunga abantu obutaggwaamu maanyi.

“Bazadde bange be banjigiriza okwagala ensi yange,” bwe yagambye. Ekyewuunyisa ku Salah, bazadde be tebaagalira ddala byabufuzi, kyokka ye omwana agamba nti bw’aba alwanirira ensi ye tatunuulira byafaayo bya bazadde, ebibiina byobufuzi oba amawanga mwe bava kuba Sudan eri waggulu wabuli kimu.

Akamu ku kakodyo k’abadde asinga okukozesa kwe kuyiiya ennyimba n’okuyiiya ebitontome omujudde obubaka obuwa abeekalakaasi essuubi.

Buli w’abadde ayogerera ng’aleka abantu bakkirizza nti ddala beetaaga enkyukakyuka. Bwe yali atandika okwekalakaasa agamba nti yasooka kusisinkana abakazi batono nga bali mu bibinja by’abantu mukaaga n’atandika okubayimbiramu nga nabo bwe bayimba.

 bantu abazzeemu okwekalakaasa Abantu abazzeemu okwekalakaasa.

 

Buli muntu eyawuliranga ng’ajja akuhhaana okutuuka abantu lwe baaweranga.

Olunaku abadde ayogerera mu nkuhhana eziwera 10 nga buli w’atuuka atontoma, ayimba n’okuwa obubaka obuzzaamu essuubi.

Abakyala abaasooka okulowooza nti eby’okwekalakaasa kwa basajja baafundikidde nabo bafungizza nga bali ku nguudo okutuusa lwe baasindiikirizza Bashir.

“Ekyokwogerera mu bantu abangi nga sirina ntengero tekinguddeko bugwi kubanga ndudde nga nkikola ku yunisate gye nsomera,” Sarah bwe yagambye.

Ekimu ku bitontome kibaddemu obubaka obugamba nti; “essasi teritta. Ekitta be bantu okusirika” era ebigambo bino abantu babadde babifuula luyimba buli wantu nga bagumya bannaabwe obutaggwaamu maanyi olw’abafa.

Buli muntu abadde alaba ku Sarah oba ekifaananyi kye ng’amanyi gamuddamu n’okujjukira obuvunaanyizibwa bwe obw’okulwanirira eggwanga lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.