TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Paapa anywegedde ebigere bya Kiir ne Macha n'abaleka nga bakutte ku mitwe beewuunya!!

Paapa anywegedde ebigere bya Kiir ne Macha n'abaleka nga bakutte ku mitwe beewuunya!!

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2019

PAAPA akkakkanye ku maviivi mu maaso g’abakulembeze ba South Sudan abali ku mbiranye n’abanywegera ku ngatto zaabwe omu kw’omu n’abaleka nga bakutte ku mitwe beewuunya obwetoowaze n’obukkakkamu bw’omusajja akulembereRa enzikiriza y’abagoberezi ba Kristo akawumbi kalamba n’obukadde 299.

56739377101573518096440788113805345177993216n 703x422

Paapa ng’anywegera Macha ne Salva Kiir bwe batalima kambugu. Baabadde Vatican

Bino byabadde mu Vatican, ekitebe ekikulu eky’Obukatoloki, omusika wa Petero gye yayise abakulembeze ba Sudan abamaze ebbanga nga banenehhana n’okuwakula entalo era ekikolwa ekyokubanywegera ku ngatto zaabwe kyabalese bakkakkanye.

Abakulembeze ba South Sudan okwabaddeko Salva Kiir, Riek Machar, nnamwandu wa owa Dr. John Garang, Rebecca Garang n’abalala abaludde nga balwanagana mu lutalo olufiiriddemu abantu ne bizinensi nnyingi omuli n’eza Bannayuganda okufa ne bafiirwa obutitimbe bwa ssente.

Paapa yabayise e Vatican okwongera okubatabaganya n’okubawa ku magezi ku ngeri gye bayinza okuddamu okukolaganira awamu, okuwa endagaano ze bazze bassaako emikono ekitiibwa, eggwanga lyabwe lifune emirembe.

Yabaatulidde nti; Abantu bammwe baakoowa dda entalo. Mubayambe mubibaggyemu, omukulembeze abeera wa kuleeta mirembe si ntalo.

Mukuume eggwanga lyammwe kubanga lye likyasinga obuto mu nsi yonna.

Katonda alonda abakulembeze babeewo mu kifaananyi kye ekitegeeza nti balina okukolerera abalala so si kwekolerera”.

Wadde ebigambo byabadde bya maanyi, akabonero k’okunywegera engatto kaabasusseeko era buli mukulembeze wa South Sudan ne bw’abeera ssentebe wa LC yamunywegedde engatto.

Baabadde nga bataano wabula bonna baatidde nga buli gw’atuukako abula kuggyawo bigere bye naye nga tasobola.

Paapa kino yakikoze kubalaga nti wadde wa njawulo ku bantu baabulijjo naye waabulijjo ng’abantu abalala era y’alina okuba ekyokulabirako, ekitegeeza nti abakulembeze abo balina okumanya nti ba wansi ku bantu be bakulembera.

Yabadde aggalawo olusirika olw’ennaku ebbiri ku Lwokubiri, mwe baayitidde okusabira emirembe e South Sudan.

Olukuhhaana lwetabiddwaamu n’akulira Abakulisitaayo mu nsi yonna, Ssaabasumba Justin Welby (Archbishop of Canterbury).

Baabadde mu nnyumba entukuvu emanyiddwa nga Santa Marta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...