TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule y'ebyokwerinda eyanjudde bajeti ya buwumbi 3,500

Minisitule y'ebyokwerinda eyanjudde bajeti ya buwumbi 3,500

By Muwanga Kakooza

Added 13th April 2019

MINISITULE y’ebyokwerinda eyanjulidde palameni bajeti ya buwumbi 3,500 ey’okuddukanya emirimu gyayo mu mwaka gw’ebyensimbi 2019/20 okukola ku by’okwerinda kw’eggwanga..

Untitled6 703x422

Minisita w'ebyensimbi, Matia Kasaija

Minisita w’ebyokwerinda Adolf Mwesige yakulembedde abakungu ba minisitule eno okwabadde minisita w’eggwanga ow’ensonga z’abazirwanako Brigh Rwamirama ,omumyuka w’omudiimizi w’amagye Lt. Gen. Wilson Mbadi  n’abakungu b’amagye abalala okugenda mu kakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda n’ensonga z’omunda.

Bajeti eyaleteddwa yabadde eyongezeddwaako obuwumbi 2,000 ku ezo ezasooka okulabikira mu biwandiiko ebyali ebya bajeti eri mu bubage eyasooka okuletebwa mu palamenti.

Mu kusooka minisita w’ensonga z’omunda ow’oludda oluvuganya Muhammed Muwanga Kivumbi (Butambala) yagambye nti okwongezebwa kw’ensimbi za minisitule y’ebyokwerinda kutyoboola amatteeka.

Muwanga Kivumbi yagambye nti bajeti ya minisitule okwongezebwaako obuwumbi 2,000 nga terina ky’eyingiza mu byanfuna ya ggwanga  kikyamu. N’agamba nti ensimbi ezaayongezeddwa zandibadde zikola ebirala.

Kivumbi  n’agamba nti wadde abaserikale ba Ldu bayiriddwa mu bitundu bya Kampala n’emirirwano kyokka obuemenyi bw’amateeka bukyeyongera.

Kyokka omubaka w’amagye Maj. Felix Kulaigye ebya Kivumbi yabiwakanyizza nti tebriiko bwiino. Rwamirama n’agamba nti okwongezebwa kw’ensimbi z’ebyokwerindkukoleddwa kukuuma byakwerinda kwa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera