TOP

Aba URA balagiddwa okunnyonnyola ku buwumbi 14

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2019

ABABAKA ba Palamenti abatuula ku kakiiko ka COSASE akabuuliriza ku bitongole bya Gavumenti, balumirizza ekitongole ekiwooza omusolo ekya URA okubeera ne kyekubiira mu nkola y’emirimu mwe banyigiririza abatono.

Ura 703x422

Ibrahim Kasozi (Makindye East) amyuka ssentebe w'akakiiko ka COSASE ng'ayogera ne Doris Akol ate ayimiridde ye David Abala (Ngora) nga bali mu kakiiko ka COSASE.

Ibrahim Kasozi (Makindye East) amyuka ssentebe w’akakiiko yeemulugunyizza ku lukalala lw’amakampuni agaafulumizibwa ekitongole ekya URA mu 2010 lwe baateeka mu mawulire nga babalanga obutasasula misolo.

Yagambye nti olukalala lwaliko amakampuni g’abanene mangi okuli n’aga Gavumenti, kyokka kyamwewuunyisa okulaba nga ebintu bya Haji.

Meddie Ssebaggala owa ‘Ssebaggala and Sons’ byokka bye byawambibwa. Kyokka akulira URA, Doris Akol yakiwakanyizza n’agamba nti eno si nkola ya kitongole n’ategeeza abalala abataaboyebwa bintu baamala ne basasula emisolo egyali gibabanjibwa. Ababaka baabadde bayita mu lipooti y’Omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2013/2014.

Ababaka baakizudde nti waliwo obuwumbi 14 obwabadde tebulagibwa ngeri gye bwasaasaanyizibwamu era URA yaweereddwa okutuuka nga April 23, 2019 babeere nga bamaze okuleeta bwiino azikwatako.

Akol yaleese ebiwandiiko eby'enjawulo okuli endagaano ze bazze bakola n’abawi b’emisolo egy'enjawulo, ng’obukakafu obulaga nti tebamala gagwira bantu ne babawambako ebyabwe nga tebategedde.

Eky’okubeera nga kkampuni nnyingi zikyalemeddwa okudda ku nkola ya 'digito' kwe bakozesereza nnamba ya TIN, kibalemesezza okugoberera obulungi ensasula y’emisolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...