TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tebakkaanyizza ku ky’okutongoza ssente ezigulirira abalonzi

Tebakkaanyizza ku ky’okutongoza ssente ezigulirira abalonzi

By Hannington Nkalubo

Added 14th April 2019

SSENTE eziyiibwa mu bululu naddala okugulirira abalonzi zikubaganyizza ba pulofeesa n’abakulembeze ab’enjawulo empawa ng’abamu bagamba nti zitongozebwe abantu bazibawe kyere ate abalala ne balabula nti bwe kikolebwa eggwanga ligenda kuba liweddemu ensa.

Mi 703x422

Nobert Mao (ku kkono), Hillary Muguzi (amuddiridde) nga bawuliriza Polof. Lumumba (ayogera). Amuddiridde ye Xavier Enjoyi.

Polofeesa ow’ettutumu mu byobufuzi okuva e Kenya, Patrick Lumumba yasomesezza nti abantu ebyobufuzi babifudde bya kusuubula tebakyabitwala nga buweereza eri ababalonda y’ensonga lwaki ssente zifuuse ensonga mu kalulu.

Baabadde mu musomo ogwategekeddwa okukubaganya ebirowoozo oba ssente zaalitongozeddwa mu kalulu abantu bagulirirwe kyere oba zissibweko ekkomo.

Gwasasuliddwa ebibiina ebiyamba mu kulonda okuli; Alliance for Finance Monitoring, National Democratic Institute, Action Aid, National Endowment for Democracy.

Yategeezezza nti ssente zaatandika okuyiika mu kalulu amangu ddala ng’enkola ey’okuvuganya mu bibiina byobufuzi ebingi egguddwaawo.

Ebintu bingi ebireeteddwa Abazungu mu Afrika bissibwe mu nkola nga bitwalibwa nga demokulaase kyokka nga bituukiriza bigendererwa byabwe.

Yasomesezza nti ebiseera by’edda ng’omuntu eyeesimbyeewo singa agezaako okulaga nti alina ssente nnyingi abalonzi batandikirawo okumwekengera n’okubuuza ebigendererwa by’alina era ssente aziggya wa?

Yagambye nti ebyobufuzi kati tebikyali bya bwongo nga bwe gwali edda y’ensonga lwaki abalonzi balekawo omuntu ow’ensonga omugezi ne balonda atasobola wadde kwogera.

Lumumba yacamudde omusomo bwe yategeezezza nti abalonzi kati bwe balaba mmotoka y’omukulembeze naddala omubaka wa palamenti bamulaba ng’ekyuma ekigaba ssente (ATM).

Yawadde amagezi gavumenti okusomesa abantu baggye ssente mu by’okulonda ate Gavumenti ziddeyo ku nnono y’okutuusa obuweereza ku bantu baayo, abatuuze bakomye okulaba abakulembeze ng’abateekeddwa okubamalira buli kimu.

Kyokka Polof. Kihura Nkuba yayawukanye ne Lumumba n’ategeeza nti ebintu byakyuka kati ebyobufuzi byafuuka bya ssente. “ Njagala ssente zitongozebwe.

Asinga okuwa abalonzi ssente gwe baba balonda. Lwaki tubikkirira amazima.

Abalonzi bwe babawa ssente tebasobola kulonda gwe baagala? Abalondeddwa bo baba tebagenda kufuna ssente era ssente bwe zikozesebwa mu kalulu ziba teziweereddwa balonzi kukulaakulanya ggwanga ? Nkuba bwe yagambye.

Yakalambidde ensi ze balaba ng’ezaakula omuli Bungereza, Amerika, China n’ebitongole byazo nga UN ne Bbanka y’Ensi Yonna tezirina wadde demokulaasi okuggyako okutabula ensi z’Abaddugavu.

Yagambye nti ayagala olunaku lw’okulonda lutwalibwe nga katale nti omuntu agenda okukuba akalulu ng’aweereddwa ssente zimuyambe okukulaakulana kubanga n’abalondeddwa baba bagenze kwongera kugaggawala.

Bannabyabufuzi abalala okuli Pulezidenti wa DP, Nobert Mao , Gen. Mugisha Muntu, akulira oludda oluvuganya gavumenti Aola Acan n’akulira okulonda mu NRM, Tanga Odoi baavumiridde abaagala okugulirira abalonzi mu kalulu kutongozebwe.

Mao yagambye nti kyabulabe kubanga eggwanga ligenda kuggwaamu ensa ebigendererwa by’okulonda bife.

Yawagidde Patrick Lumumba eyagambye nti abalonzi basomesebwe era ssente zissibweko ekkomo mu kalulu.

Ssente zikozesebwe ku bintu ebiteewalika ng’okukuba ebipande, mu ntambula n’okutegeka enkuhhaana naye okusasula abalonzi kikomezebwe.

Abakulembeze batadde omukono ku bbago erigaana okugulirira abalonzi eriyitibwa Election Campaign Financing bill 2018 lyanjulwe mu palamenti era amateeka gayisibwe agassa ekkomo ku bagulirira abalonzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...