TOP

Kkooti gwe yayimbudde bamusse ne bamwokya

By Paddy Bukenya

Added 14th April 2019

ABATUUZE baavudde mu mbeera ne bakuba omutuuze kkooti gwe yayimbudde ku gw’obubbi ne bamutta oluvannyuma omulambo ne bagukumako omuliro poliisi esanze ateta.

Genda 703x422

Poliisi n’abatuuze mu kifo we baayokedde Kyaterekera.

Bino byabadde ku kyalo ky’e Kaligwa mu muluka gw’e Mpambire mu Mpigi Town Council, abatuuze bwe baalumbye mutuuze munnaabwe mu maka ge ne bamukuba emiggo n’okumutema ebijambiya ne bamutta lwa poliisi kumuyimbula nga bamulumiriza okubabba emmere.

Innocent Elia Kyaterekera 27, ye yattiddwa, abatuuze bwe baamukwata n’ettooke eribbe ne bamutwala ku poliisi y’e Mpigi wiiki ewedde n’emutwala mu kkooti eyamuyimbudde.

Baamusanze mu makaage nga yaakatuuka ne batandika okumukuba nga bwe bamulumiriza obubbi.

Ekibinja ky’abatuuze ekibadde kikutte emiggo n’ebijambiya okusalako amaka ga Kyaterekera kiddiridde okufuna amawulire nti ayimbuddwa oluvannyuma lw’okumukwata nga bamulumiriza okubabba ebintu okuli amatooke, eppipa n’ebirala era tebamulinze kwewozaako batandikiddewo okumukuba emiggo nga baasoose kumusiba miguwa emikono n’amagulu ne bamukuba n’okumutema nga tasobola kwerwanako.

Bakira abatuuze bakuba Kyaterekera emiggo ku mutwe n’amayinja nga bwe balangira poliisi okubasibako ababbi ku kitundu ng’ebayimbula ng’ate balina obujulizi kuba ono baamukwata lubona.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Mpigi, Andrew Ainembabazi yategeezezza nti Kyaterekera yamututte mu kkooti n’ayimbulwa ng’obujulizi tebumala era n’avumirira eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...