TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yaakawoowa mukazi we bamussizza miggo na mayinja

Abadde yaakawoowa mukazi we bamussizza miggo na mayinja

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2019

Jamirah Nabukenya, abadde akuba ekyeyo mu Saudi Arabia, g’akaaba g’akomba oluvannyuma lwa bba, Salim Muwanga abadde yaakamuwoowa, okutemulwa mu ntiisa.

Kola 703x422

Nabukenya n’abamu ku bamulekwa. Mu katono, omugenzi Muwanga nga bw'abadde afaanana

BYA STUART YIGA

Muwanga omutuuze w’e Wantoni, Kitega mu Munisipaali ya Mukono, baamulesezza abaana basatu okuli omulenzi n’abawala babiri.

Kigambibwa nti waliwo mukwano gw’omugenzi eyamukubidde essimu bagende bakwate abakukusa obwennyanja obuto kuba abadde akolagana n’ebibinja by’ebitongole ebirwanyisa abakukusa obwennyanja obuto omuli ne Poliisi era yafiiridde ku mulimu.

Omu ku booluganda lw’omugenzi, Esther Nakachwa yategeezezza Bukedde nti, waliwo omusajja ayitibwa Jimmy abangi gwe bamanyi nga ‘Nnananna’ eyamukubidde essimu n’agenda okumusisinkana.

“Yagenze apapa nga banne bamugamba ayanguwe n’asimbula pikipiki ye, kyokka zigenda okuwera essaawa 4:30 nga tufuna essimu nti Muwanga bamusse!” Nakachwa, bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti amawulire gano baasoose kugatankana kyokka maama w’omugenzi Nabirye n’agenda mu ggwanika ku ddwaaliro ly’e Kawolo, gye yakakasirizza nga mutabani we bwe yabadde attiddwa ng’omutwe gwonna bagubetense.

Kigambibwa nti omugenzi yabadde ne Jimmy ‘Nnananna’ wamu ne Abubaker, nga baliko omusajja atannategeerekeka mannya gwe baakutte nga kiteeberezebwa nti yabadde aliko obwennyanja obuto bw’akukusa.

Kigambibwa era nti, omusajja ono yalaajanidde omugenzi ne banne bamusonyiwe era n’alayira obutaddamu kwenyigira mu kukukusa bwennyanja buto.

Kigambibwa nti omusajja ono yabadde asuubizza okuwa omugenzi ne banne, emitwalo mukaaga bamuleke atwale ebyennyanja kyokka baabadde bagenda we yabagambye okuziggya n’abeefuulira n’atandika okukuba enduulu nga bw’aleekaana nti, “ababbi ba pikipiki baabano mujje muntaase….” Abatuuze olwawulidde nti babbi ba pikipiki buli omu n’akunga munne ne batandika okubataayiza banne be yabadde nabo ne beemulula Muwanga n’asigala n’agezaako okwewozaako nti si mubbi kuba pikipiki eyabadde eyogerwaako nti nzibe, nnamba UEW 899L, yabadde yiye.

Omu ku babadde babeera n’omugenzi, Asia Nakanjakko, yategeezezza nti, omugenzi abadde yakawoowebwa mu bufumbo ne mukaziwe, Jamirah Nabukenya. Nabukenya abadde amaze emyaka esatu nga yagenda mu kibuga Jaddah, mu Saudi Arabia, okukuba ekyeyo kyokka gye buvuddeko, yakomawo ku butaka asobole okuwoowebwa ne bba.

 maka gomugenzi Amaka g’omugenzi.

“Baagattibwa ne bba ku Muzikiti gwa Kampalamukadde nga February 1, 2019 n’alinnya ennyonyi n’addayo nga March 22, 2019, kyokka wabadde waakayita wiiki emu ne bakamutema nti bba bamutemudde kwe kukomawo,” Nakanjakko, bwe yategeezezza.

Kigambibwa nti abantu bwe bazze okumukwata, Muwanga yayanguye n’asikayo ebbaluwa emwogerako kyokka ne wabaawo omu ku baakakiiko eyagambye nti,

“Tetwagala kumanya oba mukwata ba byennyanja oba nedda olina okufa kuba nammwe twabakoowa dda. Abatuuze olwawulidde ebigambo bino ne kibongera amaanyi ne bagenda mu maaso n’okukuba Muwanga emiggo n’amayinja okutuusa lwe yafudde.

Bamulekwa kuliko; Shadia Nakawala asoma P7, Shina Namaganda P5, ne Luqman Kigozi, asoma P2.

Poliisi yakkirizza aba famire okuziika omugenzi ku biggya bya bajjajjaabe mu disitulikiti y’e Nakaseke, oluvannyuma lw’abasawo okwekebejja omulambo nga n’okunoonyereza ku baamusse bwe kugenda mu maaso.

Ayogerera Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti, ensonga eno bakyaginoonyerezaako era bagenda kukola ekikwekweto okukwata abeenyigira mu ttemu lino.

Nnamwandu Nabukenya agamba nti abatta bba bamanyikiddwa kyokka yeewuubye ku Poliisi e Mukono awali fayiro y’omusango nga tafuna buyambi bwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....

Temu 220x290

Alondodde mukazi we gye yanobera...

OMUSAJJA alondodde mukyala we gye yanobera n’amusala obulago n’amutta ng’amulanga kumukyawa.