TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni akunze abafuzi b'ennono okukomya omuze gw'okugabana ettaka ly'abafu

Museveni akunze abafuzi b'ennono okukomya omuze gw'okugabana ettaka ly'abafu

By Muwanga Kakooza

Added 14th April 2019

PULEZIDENTI Museveni akunze abakulembeze b’ennonno okutandika okuvumirira omuze gw’okutematema n’okugabana ettaka ly’abafu n’agamba nti lisanidde kusigala wamu famire erikolerereko ebigiyambira awamu bagabane amagoba.

Soroti1 703x422

Museveni mu kutongoza ekkolero ly’ebibala

‘’Abakulembeze b’ennonno basanidde okutuyamba okusasaanya amawulire gano’’ Museveni bwe yagambye. Teyayongedde kunnyonnyola kyokka atera okugamba nti okugabana ettaka kulireka mu bugujuguju abantu bwe batasobola kulikolerako bintu bya muzinzi.

Pulezidenti bino yabyogedde aggulawo ekkolero ly’omubisi gw’ebibala erikoleddwa gavumenti ng’eyambibwa Korea e Soroti erya Soroti Fruit Fsactory erisangibwa mu kitundu ky’e Teso,okusinziira mawulire agafulumidde ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Yakunze abantu okulima ebibala, okulunda ebyennyanja n’ebisolo ng’agamba nti bigenda kubayamba okuva mu bwavu.

Yannyonnyodde nti bbanka y’ensi yonna yafulumizza ebiwandiiko ebiraga nti ebyenfuna by’ensi za Afrika bitambulira ku bitundu 2.3 buli 100 ng’ate eby’ensi yonna bikulira ku 3 buli kikumi.

Yagambye nti ebya Uganda bikulira ku bitundu 6 buli kikumi  lwa kuba gavumenti yassa essira ku bintu ebigasa nga ebyenjigiriza,amasanyalaze n’enguudo.

Yagambye nti ku katale k’ensi yonna ebibala,ebyennyanja,amata,omubisi gw’enjuki biri ku katale nnyo n’olwekyo abantu basanidde okubijjumbira. N’agamba nti e Teso waliyo emiti gy’ebibala obukadde munaana.

Yategeezezza nti okulima n’okulunda kulina kutambulira ku kubala abikola asobole okufuna ku ssente ezegasa.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...