TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi egudde eddalu: Abaserikale ba poliisi abandirwanyisizza enguzi bagirya batya emisana ttuku?

Ensi egudde eddalu: Abaserikale ba poliisi abandirwanyisizza enguzi bagirya batya emisana ttuku?

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2019

ENGUZI kati amalenge egafuuyira ku poliisi! Mu kutu kwa OC CID mwennyini, enguzi mwe yatunuzza omudumu, n’eryoka enyanyagiza emirere nga ne kkamera za Bukedde ziraba.

Ssente 703x422

Ndyanabangi lwe yalagib

Ndyanabangi ku luno kaamukuulo gwe yalidde obw’omu, yamulakidde n’aggalirwa!

Munne Olaru eyalidde obusammambiro ayimbule omusibe naye baamuyooleddewo amangu ddala nga Bukedde afulumizza ebifaananyi by’abaserikale bano nga bafuna ekyojamumiro.

Ssente z’akakalu ka poliisi baazikutte misana ttuku nga ne bendera ya Uganda eraga eri mu ofiisi ebeegese amaaso nga bakola ebitalaga mwoyo gwa ggwanga nnyaabula.

Ensi ng’enaagwa eddalu, abapoliisi abateekeddwa okulwanyisa enguzi, obuvunaanyizibwa obwo babusiba ku mpagi ne beesuubira mu ntebe ezeewuuba nga bwe baweebwa ssente z’ekibi ze baasalawo okuyita “Kintu kidogo”!

Eddalu likulira ddala nga batuuse ne ku ddaala eriyimbula omuntu gwe bamanyidde ddala nti mumenyi w’amateeka wa lulango, kavuna baweebwa emitwalo etaano!

Mu kuyimbula abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka ab’olulango, abapoliisi baba tebafuddeeyo ku ngeri muntu oyo gy’agenda kuddamu kutigomya kitundu, kiddemu okukaaba akayirigombe olw’emitwalo etaano!

Obulamu bw’abantu busobola n’okusaanawo ng’omumenyi w’amateeka azzeemu okubba n’okutemula, naye nga byonna bisimbuka ku ‘kintu kidogo’.

Emisango gy’abantu givulugibwa ne beekyawa ne batandika okutwalira amateeka mu ngalo, ne batta bassaalumanya ne bannaalumanya naye nga byonna bisimbuka ku nguzi Ndyanabangi gy’aba alidde ng’alowoozezza ku lubuto lwe lwokka, n’atalowooza ku biva mu kikolwa ye kennyini ky’alina okulwanyisa.

Bwe batandika okugirya okuviira ddala ku nguudo mu bamikonomyeru ne bagituusa mu ofiisi ng’eya Ndyanabangi ng’omanya tekakyali kazoole, ddalu lyennyini eriwedde emirimu.

Enguzi bw’esimba amakanda mu bateekeddwa okugirwanyisa ne bagiwa n’erinnya “kintu kidogo” erisiisiitiriza akazigo, ng’omanya eddalu livudde mu kukula litandise kumera nvi!

Abalina okukangavvula abali b’enguzi bwe bafuuka bakafulu abagifunira mu mukono ogwa ddyo, ng’omukono ogwa kkono guli ku ssimu, teri bweraliikirivu bwonna ng’omanya eddalu lifuukidde ddala ekkankada.

Eddalu bwe lifuuka ekkankada, abantu baba tebakyasobola kwesiga mupoliisi kumuloopera bali ba nguzi era bamaliriza beekukumye eyo mu bisegguusi n’obujulizi bwabwe ku balya enguzi.

Olwo abantu baba bamaze okukitegeera nti omupoliisi gwe banaaloopera bagenda kuba bamuwadde munyago gwennyini, ng’ekiddirira Afande kumutunulamu n’afuna kintu kidogo we, n’amukukuma mu fayiro z’emisango.

Naye nga lwaki tukkiriza enguzi okubuutikira ekitongole ate ekirina okulwanyisa kacica ono!

Bagundi abaddukanya poliisi muveeyo mugogole ekitongole kya poliisi ekirina okulwanyisa abakenuzi awatali kuttira wadde omu bw’ati ku liiso.

Bwe mutaakole ekyo, nga muwaddeyo ensi eralukire ddala nga mugyegese amaaso.

Ate ensi bw’enaagwa eddalu eriva mu kintu kidogo, ebinaavaamu nammwe byakubasammukira mubyevume naye nga temukyalina kye muzza.

Mbabuulidde misana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo