TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alimbalimba abawala okubafunira emirimu n'amala n'ababbako amasimu bmwogezza

Alimbalimba abawala okubafunira emirimu n'amala n'ababbako amasimu bmwogezza

By Musasi wa Bukedde

Added 14th April 2019

OMUVUBUKA ali mu kibinja ky’abafere abalimbalimba abawala okubafunira emirimu ne babbako amasimu gaabwe poliisi emukutte n’emwogeza gy’atunda amasimu ga banne.

Kavuma1 703x422

Mike Kavuma omutuuze w'e Gayaza yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okulimba okufunira abawala emirimu n’abbako amasimu gaabwe n'agatunda ku layisi mu Kampala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti, Kavuma abadde atuukirira abawala ku nguudo z’omu Kampala n'abakuba akalimu nga bw'asobola okubafunira emirimu egisasula emisaala emisava era ng'atuukirira nnyo b'alabye nga balina essimu ez'ebbeeyi .

“Tukutte omuvubuka amatiza abawala abalina ssimu ez’ebbeeyi n'abasuubiza okubafunira emirimu kyokka n'ababba era okumukwata yabadde aliko gwe yabadde agezaako okulimba mu kakoddyo ke kamu", Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti okukwata Kavuma kyaddiridde omu ku bawala be yabba Viola Namuyiga okumulaba ku Ben Kiwanuka Street ng’aliko omuwala omulala gwe yabadde agezaako okuyingiza ekitimba ky’okumufunira omulimu n'atemya ku mikwano gye ne bamukwata n'atwalibwa ku poliisi ya Mini Price.

Yategeezezza nti Kavuma olwamutuusizza ku poliisi yakkirizza nga bwe yatwala essimu ya Namuyiga era nga yagitunda ku kizimbe kya Kalungi Plaza ku ssente 250,000/- wadde ebalirirwamu ssente 600,000/-.

Ye Namuyiga yagambye nti essimu Kavuma gye yatwala yali ya mukwano gwe eyali agimwazise era bwe yagitwala yakakibwa okusasula 600,000/- oluvannyuma lw’okusula mu kaduukulu ka poliisi.

Kavuma yagguddwaako omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba SD: 17/11/04/2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...