TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganzi we amusse omulambo n’agusibira mu muzigo

Muganzi we amusse omulambo n’agusibira mu muzigo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Muganzi we amusse omulambo n’agusibira mu muzigo

Muk1 703x422

Omugenzi Kinkashamera bw’abadde afaanana.

ABATUUZE b’e Bwaise mu Bugalani zooni baguddemu ekyekango bwe basanze munnaabwe ng’atemuddwa, omulambo gwe nga gugaηηalamye mu kitaba ky’omusaayi mu kazigo mw’abadde asula.

Scovia Kinkashamera 35, ng’abadde aweereza mu bbaala emu e Bwaise yasangiddwa abatuuze abaakedde okutuula ku kabalaza k’omuzigo gwe abaawulidde ekivundu nga kiva mu kazigo kano, era olwagguddewo oluggi kwe kulaba munnaabwe ng’anyookako ensowera. Grace Nansubuga nga ye landiroodi w’omugenzi yategeezezza nga Scovia bw’abadde yaakasenga ku muzigo gwe era ng’abadde yaakamalawo wiiki bbiri.

Yagasseeko nti abadde ne muganzi we gw’abadde atera okupepeya naye, eya yasembye okumulaba ku Lwokutaano akawungeezi. Abatuuze balumiriza nti omugenzi abadde ne muganzi we eyategeerekeseeko erya Sam kyokka mu nnaku eziyise babadde bagugulana era ng’omusajja atuntuza nnyo omukazi.

Baagambye nti bombi baasembye okulabwako ku Lwokutaano era omusajja abadde tamanyiddwa nnyo mu kitundu kino. Amyuka ssentebe wa zooni eno, Ronald Semeere yagambye nti omugenzi abadde mukyala mukkakkamu. Alese abaana babiri be yali yazza ewa kitaabwe.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nga poliisi bwe yategezeddwa ku by’okufa kw’omukyala ono era yatandise omuyiggo gwa muganzi wa Scovia ng’ono yasembyeyo okulabwa ng’ava mu kazigo ka Scovia.

Poliisi omulambo yagututte mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa, nga bwe bakyanoonyereza ku mutemu eyakoze ekikolwa kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke