TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Temuwagira bakulembeze abatunda eby'Obusiraamu - Ndirangwa

Temuwagira bakulembeze abatunda eby'Obusiraamu - Ndirangwa

By Meddie Musisi

Added 15th April 2019

"Mpagira okwegatta kw’Abasiraamu mu ggwanga lyonna naye siyinza kukkiririza mu kwegatta na bantu wagira bantu abaliko ebbala ly’okubba emmaali y’Obusiraamu," Ndirangwa

Ndirangwainarua1 703x422

Supreme Mufti Sheikh Silman Kasule Ndirangwa n'abamu ku bakulembeze b'Abasiraamu nga bali mu Arua.

Ndirangwa akunze abasiraamu be Arua.

BYA MEDDIE MUSISI

Supreme Mufti Sheikh Siriman Kasule Ndirangwa akunze Abasiraamu b’e Arua obutawagira mukulembeze yenna eyatunda ebintu by’Obusiraamu. Yabadde yeetabye ku mukolo gw’okulayiza Sheikh Abdallah Juma Vuuni ku bwa Disitulikiti Khadi wa Arua ku Lwomukaaga mu kibuga  Arua.

Ndirangwa eyabadde ne banne okwabadde Bamaseeka ne Bannakyewa bwe bali mu bukulemberera bw’Abasiraamu obw’e Kibuli yagambye nti awagira okwegatta kw’Abasiraamu nti naye tayinza kukkiririza mu kwegatta na bantu be yayise abaliko ebbala ly’okubba emmaali y’Obusiraamu.

Sheikh Vvuni, yasabye Abasiraamu okumuyambako mu buli nsonga y’Obusiraamu mu disitulikiti n’abakuutira okubeera obumu.

Ssentebe wa Bannakyewa Alhaji Badru Sagala Kalanzi yagambye nti kaweefube gwe baatandika ow’okunoonya ebintu by’Obusiraamu mu ggwanga bakyagenda naye mu maaso okutuusa nga babimazeeyo.

Sagala yagambye nti bakyatalaaga eggwanga lyonna nga bakolagana n’obukulembeze bw’ebitundu okuviira ddala ku byalo basobole okunywezza omusingi gw’Obusiraamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte