TOP

Enteekateeka z'okuziika Taata wa Nnabagereka

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Enteekateeka z'okuziika Taata wa Nnabagereka

Tip2 703x422

Omugenzi Luswata (emabega) n’Omumbejja Ssangalyambogo. Mu maaso ye nnamwandu Luswata ( ku kkono) ne Nnaabagereka.

Buganda ekungubagira John Mulumba Luswata 80, taata wa Nnaabagereka ajja okuziikibwa enkya ku Lwokubiri e Nkumba ku lw’e Ntebe. Wano we waaziikibwa bajjajjaabe ne kitaawe Nelson Nkalubo Sebugwawo. Yazaalibwa August 22, 1938.

Kitaawe ye mugenzi Nelson Nkalubo Sebugwawo eyali Omutaka w’e Nkumba ate nnyina ye Catherine Namayaza Sebugwawo.

Yafudde Lwakuna mu ddwaaliro e Nakasero gy’amaze ekiseera ng’atawaanyizibwa ensigo n’omutima. Abadde ajjanjabirwa n’e Mulago. Katikkiro Charles Peter Mayiga yafulumizza enteekateeka z’okuziika ezitandika n’okusaba mu lutikko e Namirembe leero ku Mmande ku ssaawa 4 ez’enkya.

Eggulo akawungeezi waabaddewo okusaba mu maka ge e Nkumba. Omulambo bwe gunaggyibwa e Namirembe gujja kutwalibwa e Nkumba gye gunaasula aziikibwe enkya ku ssaawa 10 ez’olweggulo.

Ebyafaayo bya Luswata ebyafulumiziddwa famire ye biraga nti alina abaana mukaaga okuli Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nelson Kikubira Luswata, Barbra Mbalwowere Luswata Mutengu, Juliet Namagga Luswata Kinarwa, John Mulumba Luswata ne Patrick Nsubuga.

Kyokka era ekiwandiiko kye kimu ne kitegeeza nti amaze nemukazi we, Edith Luswata emyaka 50 nga ku gyo 41 babadde mu bufumbo obutukuvu mwe bazaalidde abaana bana- Nelson, Barabra, Juliet ne John Jr. Luswata alese abazzukulu 15.

Yasomera Kings College Budo mu 1946-1955 n’adda mu Kyambogo Technical College gye yafuna ebbaluwa mu byamasannyalaze (Elecytical Engineering).

Yeeyongerayo e Bungereza mu ttendekero lya Technical College Holborn. Yakolera mu Gavumenti ya Kabaka mu kitongole ky’Ebyemirimu, Otis Company e Bungereza ne mu ddwaaliro e Mulago gye yali avunaanyizibwa ku byamasannyalaze okutuusa lwe yawummula mu 1984.

Bwe yawummula n’atandika okwekozesa ng’omulimi era omusuubuzi. Yatandika woteeri ya JEB Café e Nkumba ku lw’e Ntebe gy’addukanyizza ne mukazi we kati emyaka 25. Abadde muwagizi nnyo wa mupiira.

Abadde asaagasaaga nnyo. Obulamu bwe bubadde bwa mirembe, okuggyako enkaayana z’okutunda ettaka ezaamutuusa mu kkomera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...