TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda lw'abasibe abavunaanibwa okutta Kaweesi bayombye olw'obutabayimbula

Abooluganda lw'abasibe abavunaanibwa okutta Kaweesi bayombye olw'obutabayimbula

By Edward Luyimbazi

Added 15th April 2019

Omuwaabi wa gavumenti, Jackline Okwi yategeezezza kkooti nga bwe babadde tebannamanya bukwakkulizo bwateekebwawo mulamuzi Mugambe okubayimbula.

Kawekololo1 703x422

Looya Anthony Wameli (ku ddyo) ng'ayogerako n'abasibe mu kkooti e Kololo. Okuva ku ddyo ye Joshua Kyambadde, Shafik Kasujja ne Jibril Kalyango.

ABOOLUGANDA  lw’abasibe 8 abaasigala mu kkomera e Luzira nga kigambibwa nti be batta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix  Kaweesi   batabukidde mu kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi  yonna e Kololo lwa kugaana kuyimbula bantu baabwe ate nga bakkirizibwa okuyimbulwa.

Kyaddiridde omulamuzi  Esther Rebecca Nasambu  eyatuuliddewo omulamuzi Lydia Mugambe  eyayimbula abasibe bano kyokka n’abateekako obukwakkulizo okutegeeza nti  tebannamanya  bukwakkulizo bwateekebwawo  mulamuzi Mugambe  okubayimbula.  Omuwaabi wa gavumenti,  Jackline Okwi  yategeezezza kkooti nga  bwe babadde  tebannamanya  bukwakkulizo bwateekebwawo  mulamuzi Mugambe  okubayimbula.

Anthony Wameli munnamateeka w’abasibe bano ategeezeza nti baawandiikira ekitongole kya NIRA nga April 2, 2019 okubabuulira oba amannya g’abasibe bano gyegali kyokka n’okutuusa kati tebannabaddamu. Bazziddwaayo ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 8,2019. Kino kitabudde  abooluganda lw’abasibe bano nga bagamba nti tewali  bwenkanya bukoleddwa  kubanga buli lwe bajja   ku kkooti  bagaana okubawa  abantu baabwe ate  nga  bakkirizibwa dda  okuva  kkomera Luzira  era beetegefu  okuwoza nga bava wabweru.

Bagambye nti bandibabuuliridde ekituufu  nti tebagenda kuyimbula bantu bano  ne batabamalira  budde  kujja  ku kkooti.

Wabula era Wameli yeemulugunyizza nti abasibe bano batandise ate okubaggulako emisango emirala era babakukusa okuva mu kkomera e Luzira nga babatwala mu kkooti ez’enjawulo gye baggulwako emisango emirala nga ku bano kuliko; Abdul Rashid Mbaziira ne Noordin Higenyi abagguddwako omusango gw’okukusa abaana babayingize obuyeekera.

Yagambye era nti Bruhan Balyejjusa ne Shafik Kasujja  nabo babatutte mu kkooti y’e Nabweru  gye babadde bagaala okubaggulirako emisango emirala kyolka tekyasobose kubanga baazirikiddeyo. Bino byonna byakolebwa ku Lwokusatu  nga April10,2019.

Abasibe  bano kulik; o Abdul Rashid Mbaziira, Aramazan Noordin  Higenyi, Yusuf  Mugerwa, Bruhan  Balyejjusa, Shafik  Kasujja, Joshua  Kyambade, Jibril  Kalyango ne Yusuf Siraje Nyanzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze