TOP

Paasita Muto awabudde Fresh Kid

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Paasita Muto awabudde Fresh Kid

Lip2 703x422

ALEX Kityo 8, amanyiddwa nga Paasita muto eyayatiikirira mu biseera Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) we yanoonyeza akalulu akaamutuusa ku bubaka bwa Kyaddondo East, ng’akulemberamu okusabira enkuhhaana ze yakubanga, awadde obunnabbi ku muto munne Patrick Ssenyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid eyeegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba ezikutte Bannakampala omubabiro.

Agambye nti Fresh Kid amulabamu obuwanguzi wamu n’ekitone eky’okuyimba wabula ekitone n’ettutumu by’alina mu budde buno biyinza okumuggwaako singa tawuliriza kuwabulwa kw’abantu abakulu.

Paasita muto naye abuulira enjiri nga bw’asoma ku Bright Future Gayaza mu P3. Yatenderezza Minisita Nakiwala Kiyingi ow’abavubuka n’abaana olw’okuvaayo n’aluhhamya bazadde ba Fresh Kid ku by’okuyimba mu bivvulu ekiro.Wabula n’amusaba akkirize Fresh kid okuyimba mu bivvulu ku wiikendi.

Yawabudde Fresh Kid nti teyeesembereza ebiragalalagala wadde omwenge kubanga biyinza okumuggya ku mulamwa. Yabyogeredde ku kkanisa ye eya God is Able e Manyangwa wiiki ewedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera