TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asabye Abasiraamu mu Wakiso okukkiriza enkyukakyuka mu bukulembeze

Asabye Abasiraamu mu Wakiso okukkiriza enkyukakyuka mu bukulembeze

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Asabye Abasiraamu mu Wakiso okukkiriza enkyukakyuka mu bukulembeze

Lit2 703x422

SSENTEBE w’Abasiraamu mu disitulikiti ya Wakiso, Hajji Edirisa Ssesanga Magala asabye abakkiriza mu disitulikiti eno okukkiriza enkyukakyuka empya mu bukulembeze bw’Abasiraamu mu Wakiso.

Yabadde mu lukiiko oluteekateeka okutuuza disitulikiti khadi omupya ku ssomero lya Hillside Nursery P/S e Wakiso ku Lwokuna. Kyaddiridde Abasiraamu okulonda abakulembeze abapya okuli ssentebe, Hajji Ssesanga ne disitulikiti khadi Sheikh Matovu.

Yagambye ng’obukulembeze obupya bwe bugenda okutumbula eddiini y’Obusiraamu mu disitulikiti eno.

Asabye gavumenti eveeyo ebayambe ku mulimu gw’okuzimba omuzikiti e Wakiso awagenda okubeera ekitebe ky’Obusiraamu nga beetaaga obukadde 350. Omumyuka wa disitulikiti khadi, Elias Kigozi asabye Abasiraamu okwegatta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...