TOP

Omukazi yandaga obuyaaye ne mmwesonyiwa

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Omukazi yandaga obuyaaye ne mmwesonyiwa

Jip2 703x422

Arinaitwe

NZE Ben Arinaitwe, mbeera Lusaka-Kirombe. Natuuka nga nfuna omuwala nga twagalana bulungi kubanga twali tumalidde ddala ebbanga ng’andaga nti anjagala nnyo naye nga tulwawo okusisinkana mu buntu okubeerako bye tunyumya.

Omuwala ono twawangaalira ddala naye kubanga twali twakamala emyaka ng’ebiri (2) naye nga nalemwa okutegeera embeera ze entuufu kyokka nga nnali mmuwa buli kimu kye yansabanga awamu n’ebyo bye yabeeranga tansabye era nga nkakasa nti mu ekyo yali tajula.

Oluvannyuma lw’okwagalanira ebbanga nga lya mwaka mulamba n’asalawo okutandika okumuyingizaamu endowooza y’okumuwasa, naye kye yasanyukira era ne kindaga nti tuli bumu mu nsonga z’omukwano.

Olumu nakeera ku makya ne mukubira essimu nga era bwe twateranga okuwuliziganya naye ku mulundi guno nali njagala kulabagana naye tubeereko bye twogera wabula yakimmalako okusinziira ku bye yanziramu nga byawukanira ddala ne bye nnali nsuubira. Omuwala ono yankaluubiriza nga mukubidde essimu ne bye nnali musaba okusisinkana ne bintama anti buli lwe namukubiranga nga tampa budde ng’ampoleza kimu nti alina by’aba akola.

Bwe nalaba nga biri bityo nasalawo okuddamu okukubira omuwala ono essimu ne mmubuuza oba nga yali alinayo omusajja omulala gw’awa obudde atali nze wabula bino byonna yabyegaana era n’antegeeza nga bw’anjagala ennyo kye sakkiriza bulungin’okutuusa kati kubanga omuntu gw’oyagala tasobola ate kukukola ebyo nze bye yali ankola.

Waliwo omusajja omu gwe nnali mmanyi era nga nteebereza okuba nti baali baagalana naye bwe nnamumubuuza yaηηamba nti ono baali ba mukwano bukwano era emboozi nga tegenda wala. Nange bwe saabimatira bulungi bye yali aηηambye nasalawo okumwesonyiwa era kati mmulaba bulabi nga mukwano gwange anti nze ssiri ku bayaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...