TOP

Enkoko e butambala ziguddemu obulwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Enkoko e butambala ziguddemu obulwadde

Kop1 703x422

ABALUNZI b’enkoko mu ggombolola y’e Ngando mu Butambala obulwadde bugudde mu nkoko zaabwe wabula bo ne beeraguza nti okuzisiba obuveera mu biwawaatiro kye kinaaziwonya.

Ebyalo omuli; Butende, Lwanjiri, Kannyogoga, Kiwaala, Lwamasaka, Lugali, n’ebirala byonna kati enkoko bazisibamu buveera obwa langi ya kiragala. Enkoko ezirumbiddwa obulwadde z’ezo ezirundibwa mu maka mu nkola y’okuziggulira ku nkya ne zitaayaaya olwo akawungeezi ne ziggalirwa.

Aramanzane Kayongo omutuuze w’e Butende agamba nti, yaakafiirwa enkoko eziwera 90 mu wiiki ssatu okuva obulwadde lwe bwamuzinda.

OBUBONERO BW’ENKOKO ENDWADDE

l Obuvunza okubembera ku maaso g’enkoko.

l Okukolola mu kamwa nemuvaamu ebintu ebyefaanaanyiriza eminyira. l Okususumala ebyoya.

l Enkoko okufuluma kalimbwe omweru nga wamazzi.

l Enkalamata mu nkoko. Enkoko eneerumbibwa obulwadde ebiseera ebisinga eba eyoya amazzi era eba ku kinywero.

l Okuziggulira ku nkya ne zituukira mu bisiikirize ne zigalamira. 

Okutambula nga zisonooka nga n’okugikwata terwana.

OMUKUGU AWADDE AMAGEZI Vicent Matovu omusawo w’ebisolo omutongole ku ggombolola y’e Ngando yagambye nti, obulwadde mu nkoko bubuzaabuza abalunzi kuba mu biseera by’ekyeya bubaawo so ne ku nkuba busobola. “Obulwadde mu nkoko oluusi buva ku ngeri enkoko gye zirabirirwamu.

Kizibu okuwunzika nti bulwadde gundi okuggyako nga tulabye ku nkoko kuba obubonero bw’obulwadde bw’enkoko obumu bufaanagana”. Matovu bwe yagambye. Yayongengeddeko nti, obulwadde buno mu nkoko buwona era bwangu bwa kwewalibwa.

Abantu batunule n’eriiso ejjoji batubuulire obubonero bwebalaba mu nkoko endwadde tuzijjanjabe nga tutegedde kye tujjanjaba. Okusiba obuveera mu nkoko tekirina bwe kijjanjaba nkoko wadde okutangira endwadde mu nkoko.

OKUTANGIRA ENDWADDE MU NKOKO

Matovu yawadde abalunzi b’enkoko amagezi bakole bino; l Okukuuma ekiyumba enkoko mwezisula nga kiyonjo. Enkoko zetaaga ekifo omutali nfuufu kuba enfuufu kye kimu ku bivaamu obuvunza obuyinza okuvaako enkoko okulwala. l Okukuumira enkoko ensaamusaamu mu kiyumba.

Kuba bwe zisukka obungi ziziyira ne zifa.

l Ennyumba omusulwa enkoko eteekwa okubaako obumooli zifune ekitangaala n’obussizo.

l Enkoko eyeyolesemu obulwadde buno egwana kwawulwa okuva mu zikyali ennamu ereme kusiiga ndala.

l Obutakkiriza nkoko yonna kulya nnyama y’eyafudde obulwadde buno. Bw’eba nnamu ekwatibwa obulwadde ate bw’eba ndwadde eba nzibu ya kujjanjaba kuba buno buba butuuse mu byenda.

l Okuziika enkoko ezifudde. Obulwadde buno busobola okuyita mu mpewo ne bukwata endala. Ebyenda okubireka ku ngulu kiyinza okulwaza ezitannakwatibwa wadde nga tezibiridde. l Okuzaawulira ebinywero. Enkoko endwadde tesaanira ddala kunywera mu kinywero ezitannakwatibwa bulwadde mwe zinywera.

l Okugema enkoko zonna. TEMULYA NKOKO NDWADDE Matovu yalabudde abantu okukomya okulya enkoko ezirwadde. Yagambye nti obulwadde bw’enkoko obumu busobola okukwata omuntu singa alya enkoko ng’ebadde n’obulwadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...