TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lipooti ya poliisi eyanise abaserikale baayo abalya enguzi

Lipooti ya poliisi eyanise abaserikale baayo abalya enguzi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

Lipooti ya poliisi eyanise abaserikale baayo abalya enguzi

Deb2 703x422

Poliisi ya CPS mu Kampala.

POLIISI efulumizza lipooti ku baserikale be balumiriza okulya enguzi. Lipoota eno eraze emisango 174 abantu ab’enjawulo gye baagiroopera mu 2018 okuva mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu n’engeri gye gikwatiddwa.

Ku misango 174 egyekuusa ku buli bw’enguzi egyaloopebwa kuliko 104 gyanoonyerezebwako ne gifundikirwa ate emisango 70 gikyanoonyerezebwako. Emisango gino, poliisi yagisengese okusinziira ku ofi isi gye gyaloopebwa wabula egisinga obungi gyaloopebwa mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) e Naggulu.

1 Emisango egy’okukozesa obubi ofi isi egyaloopebwa mu kitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku bakozi n’ebyamateeka gyali ena ate egikolebwako PSU giri esatu, egyekuusa ku nguzi egyaloopebwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi giri 17, ate egiri mu kkooti ya poliisi giri ebiri, egyatwalibwa ewa Ssaabawaabi wa Gavumenti giri 11 ate egikyabuulirizibwako PSU giri 31.

2 Emisango emirala mulimu egy’okusaba enguzi egyaloopebwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi giri esatu, egyagobwa ofi isi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti giri ebiri ate eginoonyerezebwako PSU giri etaano.

3 Emisango gy’abaserikale abaawaliriza abantu okubawa ssente okubakolera ku nsonga zaabwe egyaloopebwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi mu poliisi giri 30, egyatwalibwa ewa ssaabawaabi wa Gavumenti giri 21, egyagobwa giri 14 ate egikyabuulirizibwako PSU giri 31 gyonna omugatte ne gibeera 174.

Lipooti erimu n’emisango emirala egyaloopebwa mu mwaka mulamba 2018 omuli egy’okutyoboola eddembe ly’obuntu, okutulugunya abantu, okugoba abaserikale ku mirimu mu bumenyi bw’amateeka nga gino gyonna omugatte gwagyo guli 2,383.

 

KAMPALA N’EMIRIRAANO Y’EKULEMBEDDE MU BULI BW’ENGUZI

Poliisi mu Kampala n’emiriraano omuli Kampala, Mukono ne Wakiso, ye yakulembedde ku bungi bw’emisango egyaloopebwa nga giri 1,013.

Ku misango egyo kuliko 466 egyaloopebwa ku kitebe kya PSU e Naggulu. Ofi isi za PSU mu bitundu by’eggwanga ebirala nayo baaloopayo emisango era Mbale baaloopayo emisango 149, PSU Mbarara yalooperwa emisango 141, PSU Jinja abantu 128 be baagiroopera, PSU Arua baagiroopera emisango 60, PSU Masaka gyali 62, Mityana emisango gyali 55, Luweero gyali 54, Soroti giri 48, Fort Portal gyali 51, Lira gyali 34, Moroto gyali 21, Kabale giri 15, Gulu giri 57, Hoima giri 29. Lipooti era eraga nti, abaserikale ku poliisi mu buvanjuba bwa Kampala (KMP East) 293 be baaloopebwa.

Ku kitebe kya KMP East, baaloopawo abaserikale 4 nga ku gino omusango gumu gwaggwa ate esatu gikyanoonyerezebwako. Jinja Road, abaaloopebwa bali 76, emisango mwenda gyaggwa, 67 gikyakandaaliridde, Kira Division abaaloopebwa bali 70, emisango mukaaga gyaggwa, 64 gikyakandaaliridde, Kira Road 67 be baaloopebwa, emisango etaano gyaggwa ate 62 teginnakolwako, Mukono abaaloopebwa bali 61 emisango mwenda gy’egyakolebwako ate 52 teginnakwatibwako ne Naggalama 15 be baaloopebwa ogumu ne gukolebwako ate 14 gikyakandaaliridde.

Mu bukiikakkono bwa Kampala abaserikale be baaloopa baali 371, emisango egyaloopebwa ku kitebe gyali mwenda, etaano gyakolebwako ne giggwa ate ena gikyakandaaliridde, e Kakiri egyaloopebwa gyali 16 emisango esatu ne giggwa 13 gikyakandaaliridde.

Emirala, e Kasangati baaloopa 66 PSU n’enoonyereza ku misango 23 ne giggwa ate 43 gikyali, Kawempe baaloopa emisango 81 emisango 11 ne gikolebwako ate 70 gikyalindiridde, e Nansana baaloopa 39 ne bakolako 13 emirala 26 teginnakolebwako, Old Kampala baaloopa 87 emisango 23 ne gikolebwako emirala 64 gikyali, Wakiso baaloopa 52 ne bakolako 18 ate 34 gikyakandaaliridde, e Wandegeya baaloopa 21 ne bakolako esatu ne wasigala 18.

Mu bugwanjuba bwa Kampala (KMP South) abaaloopebwa baali 464, be baaloopa ku kitebe baali 12 emisango gyonna teginnakolebwako, CPS mu Kampala baaloopa 145, emisango 48 gyaggwa ate 97 gikyakandaaliridde.

Emirala, e Ntebe baaloopa 36 omusango gumu gwaggwa ate 35 teginnakolebwako, Kabalagala, baaloopa 46 etaano ne gikolebwako 41 teginnakwatibwako, Kajjansi emisango gyali 51 ne bamalirizaako musanvu, 44 tebannagikwatako, e Katwe baaloopa 129 emisango mukaaga gyokka gye gyakakolebwako ate 123 teginnakolebwako n’e Nsangi emisango 45 gy’egyaloopebwa 15 ne gikolebwako ate 30 gikyakandaaliridde.

Omwogezi wa PSU, Vincent Ssekate yagambye nti, omulimu gwabwe nga PSU, banoonyereza ne bakola fayiro nga bataddeko ebiteekeddwa okukolebwa ku muserikale aba avunaanibwa (recommendation) ne bagisindika mu ofi isi ya poliisi eruηηamya ku by’amateeka (legal).

Yagambye nti, si be basalawo ekibonerezo ekirina okuweebwa omuserikale aba avunaanibwa omusango, kubeera kusalawo kwa kkooti n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amateekaLipooti ya poliisi ejjidde mu kiseera nga Bukedde yaakamala okukola okunoonyereza ku baserikale abalya enguzi ku bantu okubawa akakalu ka poliisi era abaakwatibwa lubona nga baggya ssente ku bantu, George Ndyanabangi eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ya Kabowa Community Police ne Yokolamu Olaru eyali akola ku fayiro ya Rashid Mugenyi poliisi ebabuulirizaako.

Ssekate yagasseeko nti, faiyro z’emisango 54 zaatwalibwa ewa Ssaabawaabi wa Gavumenti ne basimbibwa mu kkooti ezaabulijjo, 50 ziri mu kkooti ya poliisi ate 70, bakyaginoonyerezaako.

Yannyonnyodde nti, mu nkola ya PSU, bwe bamala okunoonyereza, balambika ekirina okukolebwa. Egirimu enguzi ne gisindikibwa mu kkooti ewozesa abakenuzi egisangibwa nga girimu obusiiwuufu bw’empisa bagisindika mu kkooti ya poliisi era yeesalawo ekibonerezo.

Yannyonnyodde nti, emisango egisinga obungi giva mu kitundu kya Kampala wadde nga buli kitundu balinayo ofiisi era nazo bwe zifuna emisango zigisindika ku kitebe. Yagambye nti, bayita mu mitendera gye gimu okunoonyereza era olumu kibatwalira obudde okumaliriza okunoonyereza ate olumu ne banguyirwa.

Emboozi zino ziri wansi w’enkolagana ya Vision Group ne DGF okutumbula eddembe ly’obuntu n’okuyamba abantu okufuna obwenkanya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....