TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nkooye okubakuba kibooko ka mpummule ebyobufuzi - Mutabaazi

Nkooye okubakuba kibooko ka mpummule ebyobufuzi - Mutabaazi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th April 2019

ABALIMI b'amatooke n'emmwaanyi e Lwengo abeegattira mu kibiina kya Bukoto-Lwengo Multi-Purpose bali mu kasattiro olwa ssentebe wa disitulikiti, George Mutabaazi okukabatema nga bw’atagenda kudda mu by'obufuzi by'e Lwengo.

Mutabaazi 703x422

Mutabaazi (ku kkono) ng’ayogera mu lukiiko.

 
Mutabaazi yategeezezza nti bye babadde bawulira nti tagenda kudda bituufu. “Mu butuufu toyinza kuba mukulembeze ng'abantu b’okulembera bategeerera ku kibooko.
 
Wano nabazimbisa kaabuyonjo ku kibooko, okulima emmere nga mukukolera ku kibooko, abakeera mu mabaala kibooko abaffe mwali mulowooza ng’enda kukyama mu buyonjo zammwe?’’ Mutabaazi bwe yabuuzizza abatuuze.
 
Mutabaazi ye muyima w'ekibiina kino n'omubaka Amos Mandera abasaka obutale okuva mu mawanga okuli; Sudan, Rwanda,Tanzania ne Kenya nga bayise mu Pulezidenti Museveni mu kuyambako abalimi bano okufuna ensimbi ezeegasa ng'amawanga gano gabagulako ebirime byabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera