TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka yennyamidde olw’abasajja abatakyalina waaka mu nsonga z'omu kisenge

Omubaka yennyamidde olw’abasajja abatakyalina waaka mu nsonga z'omu kisenge

By John Bosco Mulyowa

Added 15th April 2019

OMUBAKA omukazi ow’e Kyotera, Robinah Ssentongo Nakasirye alaze obwennyamivu olw’abasajja abasusse obwa ssemugayaavu mu kusanyusa abakyala mu kisenge n’agamba nti kino ky’ekimu ku bivuddeko obutabanguko mu maka n’okubaliga okweyongera e Kyotera!

Omubakarobinassentongo 703x422

OMUBAKA omukazi ow’e Kyotera, Robinah Ssentongo Nakasirye

Ssentongo yasinzidde ku kujaguza olunaku lw’abakyala olwa disitulikiti y’e Kyotera olwabadde ku kisaawe ky’essomero ly’e Kyakkonda mu ggombolola y’e Kasaali n’asaba abasajja beefeeko kuba bangi ku bakyala bali mu maka kyokka baliyo lwa kukuuma kitiibwa kya bufumbo naye ng’ebyessanyu baabivaako.

"Abasajja mwefeeko ku nsonga za ‘waaka’.

Abakyala bangi bali mu maka naye ennyonta ebatta noolwekyo abasajja mwefeeko kuba embeera eno evaako abamu okubaliga n’obutabanguko mu maka," Ssentongo bwe yagasseeko wakati mu nduulu okuva mu bakyala banne abaabaddewo.

Akulira abakyala e Kyotera, Zulfah Nakimera yalaze obwennyamivu olw’ensimbi entono ezibaweebwa ng’abakyala okusobola okuziwola mu bibiina n’agamba nti zikyali ntono ng’ate ebibiina by’abakyala bingi ebyetaaga okuyambibwa nga byewola ensimbi zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera