TOP

Sipiika Kadaga akomyeewo kasirise mu ggwanga

By Kizito Musoke

Added 16th April 2019

Sipiika Kadaga akomyeewo kasirise mu ggwanga

Lab2 703x422

Rebecca Kadaga

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga akomyewo kasirise mu ggwanga ng’ava mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi gye yatwalibwa ng’alumizibwa. Sam Obbo munnamawulire wa Sipiika yakakasizza nga Kadaga bwe yakomyewo kyokka n’agaana okulambulula ebisingawo.

Yasuubizza nga bw’ajja okufulumya ekiwandiiko ku nsonga eno gye bujja. Kyokka ensonda mu famire zaategeezezza nti yakomyewo ku Lwomukaaga ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo ng’ennyonyi yamutuusirizza ku kisaawe e kikadde e Ntebe. “Kituufu twamukimye wadde yabadde alabika nga munafu, kyokka yabadde ali mu mbeera nnungi.

Tumusuubira ekiseera kyonna okuddamu okukakkalabya egy’eggwanga bw’anaaba amaze okuwummulamu,” owa famire ataayagadde kumwatuukiriza mannya bwe yagambye.

Mu kuva ku nnyonyi yasobodde okutambula obulungi, wadde nga bwe yabadde alinnya emmotoka eyamwongeddeyo bamukutteko. Enteekateeka eyakoleddwa nga ya kyama kyategeezeddwa nti Kadaga ye yagyagadde nga tayagala kusasamaza bantu kumanya nti yabadde akomyewo.

Teyatambulidde mu mmotoka ye entongole ey’obwasipiika. Wiiki ewedde Kadaga yaweereza obubaka eri ababaka ba Palamenti n’eggwanga ng’abagumya nga bwe yali yeewulira obulungi era ng’asuubira okukomawo mu ggwanga ekiseera kyonna.

Obulwadde obubadde butawaanya Kadaga okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumizibwa Obbo kyava ku bukoowu olw’olugendo lwe yaliko mu Amerika n’amawanga amalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...