TOP

Ogwa ‘Togikwatako’ gusalwa Lwakuna

By Alice Namutebi

Added 16th April 2019

KKOOTI ey’oku ntikko etaddewo Olwokuna nga April 18, 2019 okuwulira ensala yaayo esembayo oba ekkiriza etteeka eryaggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti okusigala nga likola.

O703422 703x422

Omusango gwawulirwa abalamuzi bataano abaakulemberwaamu amyuka ssaabalamuzi Alfred Owiny Dollo, Elizabeth Musoke, Cheborion Barishaki, Kenneth Kakuru, ne Remmy Kasule.

Abalamuzi abagenda okusalawo oba bakkiriziganya n’ensala y’abalamuzi bannaabwe aba kkooti etaputa Ssemateeka abaatuula e Mbale ne basazaamu eky’ababaka ba Palamenti okweyongeza ekisanja okuva ku myaka 5 okutuuka ku myaka musanvu.

Ensala eno yali yaakuweebwa ennaku 30 emabega, (omwezi oguwedde) nga kkooti bwe yali etegeezezza nti ejja kuwa ensala yaayo mu nnaku 60 okuva ku lunaku lwe baamala okuwulira obujulizi naye kigitwalidde ennaku 90 ng’abalamuzi bakyetegereza obujulizi.

Singa abalamuzi basalawo nti bakkiriziganya n’ebyo ebyasalibwawo e Mbale, ensonga enkulu ejja kuba nti Museveni waddembe okuddamu n’avuganya mu kalulu ka 2021 wadde ng’anaaba asussizza emyaka 70 era n’ekisanja ky’ababaka ba Palamenti kijja kuba kisigadde ku myaka 5 so ssi 7 nga bwe baali beeyongezezza.

Eggulo omu ku baaloopa emisango gya ‘Togikwatako, Male Mabiriizi yatutte omusango mu kkooti Enkulu ng’aloopa Ssabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe okulwawo okuwa ensala yaabwe mu musango gwabwe.

Mu mpaaba ye, Mabiriizi abadde agamba nti abalamuzi okulwawo okuwa ensala yaabwe kigenda kukosa okulonda okujja kubanga Museveni ayinza okuddamu okwesimbawo kyokka ng’eggwanga terinnamanya oba ng’etteeka linaamukkiriza singa okujulira kwabwe kuba kuyiseemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze