TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Nsereko bamututte mu kkooti lwa bukadde 800 ez’ettaka ery’oluguudo lye yatunda

Omubaka Nsereko bamututte mu kkooti lwa bukadde 800 ez’ettaka ery’oluguudo lye yatunda

By Musasi wa Bukedde

Added 16th April 2019

OMUBAKA Muhammed Nsereko akiikirira Kampala Central bamuwawaabidde mu kkooti lwa nsimbi obukadde 800 ez’ettaka ery’oluguudo lye yatunda.

Mohammadnsereko703422 703x422

Omubaka Muhammad Nsereko

BYA ANNET NALUGGWA

Ettaka erizaalidde Nsereko obuzibu lisangibwa ku Bat Valley Crescent ng’agambibwa okulitunda bwe yali ssentebe w’akakiiko k’ettaka mu Kampala Central.

Omusango guno guli ku fayiro nnamba CS 282/2019 mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala nga guweereddwa omulamuzi Richard Wejuli Wabwire okuguwulira.

Nsereko awawaabiddwa n’akakiiko aka Kampala District Land board.

Bwindi Mgahinga Conservation Trust be baawaabye nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Nangwala, Rezida & Co Advocates era mu mpaaba yaabwe bagamba nti nga April 4, 2014 omuwaabi ne Nsereko baakola endagaano y’okugula ettaka erisangibwa ku Freehold volume 1440 Folio 8 ku poloti 9 Bat Valley Crescent ku 800,000,000/- era zaasasulwa mu bujjuvu.

Mu bujulizi bwe bawadde kkooti bataddeko ne kkopi za ceeke kwe baasasulira ssente zino nga April 4, 2014 ne April 22, 2014 mu Stanbic Bank.

Endagaano eno ey’okutunda ettaka lino, Nsereko yakkirizza nti alina olukusa okukyusa ekyapa okukizza mu mannya g’omuwaabi era ettaka omuwaabi ne bamukolera n’ekyapa mu bukyamu nga bakimanyidde ddala nti ettaka ligenda kuzimbibwako luguudo.

Kyokka omuwaabi bwe yasaba KCCA okukulaakulanya ettaka lino ne bamugaana nga August 5, 2015 ng’ebbaluwa eno baagiwandiikira abaali balooya be aba KMNN nga bamutegeeza nti ettaka lino ligenda kuzimbibwamu oluguudo.

Bagamba nti ne Kampala District Land Board nayo evunaanyizibwa era nayo baayagala ebaliyirire olw’ebyo bye bafiiriddwa. Babalanga ne Nsereko okuba nti tebaagenda mu KCCA kuzuula oba ddala ettaka eryo lyali terigenda kukozesebwa.

Ate bwe baba baali bakimanyiiko, kitegeeza nti baafuna ssente okuva ew’omuwaabi nga bakimanyi nti ettaka lino lyali si lya kukozesebwa muwaabi. Omuwaabi agamba nti ettaka lino alisaasanyizzaako ssente endala okuli 59,911,200/=.

Kati asaba kkooti ekake abawaabi okusasula ssente ze yasasula ng’agula ettaka lino ne zaasaasanyirizza ku musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...