TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini, Gav't n'abooludda oluvuganya beesozze olusirika

Bannaddiini, Gav't n'abooludda oluvuganya beesozze olusirika

By Muwanga Kakooza

Added 16th April 2019

AKAKIIKO akagatta enzikiriza mu ggwanga aka ‘’Inter-Religious Council of Uganda (IRCU)’’, gavumenti n’aboludda oluvuganya beesozze olusirika olugendereddwamu okutema empenda z’okutambuzaamu ebikwata ku nteeseganya n’okukkaanya kwa Bannayuganda bonna ku bintu ebiruma eggwanga.

Wano 703x422

AKAKIIKO akagatta enzikiriza mu ggwanga aka ‘’Inter-Religious Council of Uganda (IRCU)’’, gavumenti n’aboludda oluvuganya beesozze olusirika olugendereddwamu  okutema empenda z’okutambuzaamu ebikwata ku nteeseganya n’okukkaanya kwa Bannayuganda bonna ku bintu ebiruma eggwanga.

Olusirika lwabadde  ku Botanicle Beach Hotel e Ntebe era lwetabiddwaamu n’omumyuka wa Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukutana eyakulembedde oludda lwa gavumenti.  

Ab’oludda lwa gavumenti abalala kwabaddeko ; minisita w’okusikiriza bamusiga nsimbi  Evelyn Anite, omumyuka w’omuwanika wa NRM  Dr Kenneth Omona, mmemba w’akakiiko ka CEC ya NRM , James Tweheyo  n’omuwabuzi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro Dorothy Kisaka.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao ye yakulembedde omukago gwa IPOD.Mao olusirika yalwetabyemu ne Ssabawandiisi wa DP Gerald Siranda, ate Betty Aol Achan n’akikirira oludda oluvuganya mu palamenti ate omubaka wa Erute South, Jonathan Odur n’akirira aba UPC.

Aba IRCU baakikiriddwa Mufuti  Sheikh Shaban Mubajje, alung’amya ebyeteseganya zino Bishop Joshua Lwere  okuva mu kibiina kya the ‘’National Alliance of Pentecostal and Evangelical Churches in Uganda’’.

Rukutana yagambye nti Pulezidenti Museveni yakkirizza olukung’ana lw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga enkulu eziriwo mu ggwanga.Wagenda kubaawo okukung’anya ebirowoozo okuva mu Bannayuganda bonna boogere ensonga ezeetaaga okuteesebwako n’okukanyizibwa era bino bye bigenda okukulembera eby’okukyusa mu konsityusoni ya Uganda,okusinziira ku Rukutana.

Gavumenti era yakkirizza okussa ensimbi mu nteseganya n’okukaanya ku nsonga eziruma eggwanga ezeetaaga okumulungulwa.

Rukutana yakiriziganyizza ne Polof. Fredrick Ssempeebwa eyagambye nti eby’okukaanya kuno bye birina okukulembera eby’okukyusa mu Konsityusoni .Era okutongozebwa kw’okukaanya kuno kulina kubaawo butasukka june 30

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...