TOP

Poliisi ennyonnyodde ku kivvulu kya 'Kyalenga

By Martin Ndijjo

Added 17th April 2019

Poliisi ennyonnyodde ku kivvulu kya 'Kyalenga

Nab1 703x422

Bobi Wine

OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alayidde nga bw'agenda okugenda mu maaso n’ebivvulu bya Kyalenga ebitegekeddwa mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo wadde nga poliisi ekyagaanye okumuwa olukusa.

Bobi Wine eyabadde ayogeza obumalirivu yasinzidde mu lukuhhaana lwa bannamawulire eggulo e Kamwokya n'ategeeza nga okuyimba bwe kiri ekitone kye era ddembe lye kubanga gwe mulimu mwaggya ssente ezimubeezaawo ne famire kale talaba nsonga lwaki bamugaana.

Yabadde ne bamaneja be ssaako ba pulomoota; Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abtex ne Andy Mukasa owa Bajjo Events abagamba nti omwezi gumu emabega baawandiikira poliisi nga bagitegeeza ku bivvulu bye bategese, e Busaabala ku One Love beach ku Easter Monday, Lira nga May 3, Gulu nga May 4 ne Arua nga May 5 kyokka n’okutuusa kati tebaddangamu kye beekengedde nga bagamba nti kandiba akakodyo akakolebwa poliisi okuvaayo ku ssaawa esembayo ekabateme nti ebivvulu bisaziddwaamu.

Bobi Wine wano we yasinzidde okugamba nti ku mulundi guno tagenda kugenda mu kkooti kubanga n’omusango gwe yaloopa teguwulirwanga n'akunga abantu omuli ne bayimbi banne okusituukiramu balwanirire eddembe lyabwe ng'agamba leero kiri wuwe enkya kigenda kubeera ku muyimbi mulala.

“Ffe tetulina musango gwe twakola gavumenti eno era tetuli bamenyi bamateeka tukola mirimu gyaffe, gye twasomerera gyagaana nga muganda wange ono Nubian li yasoma gwa kubala bitabo emirimu ne gibula kati kwe kutondawo gye tusobola era gituyamba n’okuyamba bannaffe Bo bapulomoota Abitex ne Bajjo balaze okutya nga bwe boolekedde okufiirwa ssente empitirivu ssinga Bobi Wine tebamukkiriza kuyimba.

Baagambye nti “ffe tetutegese Hon. Kyagulanyi tutegese Bobi Wine era z'endagaano ze tulina. Ekisinga okutwewuunyisa tetulabanga ku bbaluwa ntongole kuva mu gavumenti oba ewa Pulezidenti Museveni etegeeza nga Bobi Wine bw'atakkirizibwa kuyimba naye simanyi lwaki bamugaana".

Ebivvulu bino tubitaddemu obutitimbe bwa ssente kale tusaba poliisi ereme kutufiiriza ate si ffe ffeeka abafiirwa wabula n’abantu abalala bangi ebivvulu kwe bitambulira naye ssinga poliisi egaana okutuwa olukusa n’obukuumi ffe twekozeemu dda omulimu okulaba ng'abantu beekuuma.” Ssinga poliisi egaana ebivvulu bya Bobi Wine guno si gwe mulundi ogugenda okubeera ogusoose ng’ebivvulu bye bigaanibwa.

Mu August w’omwaka oguwedde poliisi yagaana ekivvulu kya Kyalenga mu kisaawe e Namboole ng’egamba nti waliwo abantu abatali bamu abagenda okutegekerayo emikolo okutuuka nga January 2019.

Wadde ng’oluvannyuma baamukkiriza okukitegeka e Busaabala ku One Love beach, ebivvulu ebirala bye baali bamupangisizzaamu okuyimba byo byagaanibwa nga poliisi egamba byali biyingiziddwaamu ebyobufuzi ekyavaako abategesi okufiirwa obutitimbe bwa ssente abamu n’okutuusa kati bakyalaajanira Pulezidenti Museveni abaliyirire.

POLIISI EYAGEDDE

Fred Enanga omwogezi wa poliisi mu ggwanga bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga z’ebivvulu bya Bobi Wine ono yasoose kutegeeza nga bw'atalina kyabimanyiiko n'ajuliza dayirekita w’ebikwekweto mu poliisi nti abadde taliiwo mu ggwanga wabula yakomyewo era agenda kumwebuuzaako okukakasa oba ddala Bobi ne banne baawandiikira poliisi nga bwe bagamba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...