TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalamuzi kwe bagenda okusinziira okusala ogwa ‘Togikwatako’

Abalamuzi kwe bagenda okusinziira okusala ogwa ‘Togikwatako’

By Kizito Musoke

Added 17th April 2019

Abalamuzi kwe bagenda okusinziira okusala ogwa ‘Togikwatako’

Lop2 703x422

Ssaabalamuzi Katureebe

ENKYA ku Lwokuna, Kkooti ey’oku ntikko lw’egenda okuwa ensala yaayo ku musango gw’okujulira ku nsala ya kkooti etaputa Konsitityusoni abalamuzi baayo mwe baasalirawo nti Palamenti yayisa mu butuufu etteeka eriggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Omusango gwaloopebwa abantu b’ebibiina eby’enjawulo omwali: munnamateeka Male Mabiriizi, Uganda Law Society n’ababaka mukaaga aboludda oluvuganya bonna awamu abaakuba ebituli mu nsala y’Abalamuzi ba kkooti etaputa Konsitityusoni abaatuula e Mbale ne bayisa ensala nti ekkiriza nti, Palamenti yakolera mu mateeka ng’eggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Ensala y’enkya egenda kuweebwa abalamuzi musanvu abakulirwa Ssaabalamuzi Bart Katureebe, n’abalala okuli: Lillian Tibatemwa- Ekirikubinza, Stella Arach Amoko, Eldad Mwangusya, Jotham Tumwesigye, Rubby Opio-Aweri ne Paul Mugamba.

Abalamuzi ensonga ze bagenda okuwaako ensala z’ezo abawaabi ze beemulugunyaako era ze bagamba nti kkooti kw’erina okusinziira okusazaamu byonna ebyayisibwa. Eky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti balumiriza nti kyayisibwa mu bukyamu kuba kyetobekamu emivuyo omwali n’amagye okukuba ababaka ba Palamenti.

Mabiriizi agamba nti, Kkooti ya Ssemateeka yalina kyekubira era ng’emirundi mingi baamugaananga n’okunnyonnyola ensonga ze. Wadde ng’omuduumizi w’eggye Gen. David Muhoozi n’akulira eggwanika lya Gavumenti Keith Muhakanizi baggyibwako obujulizi, kyokka tebwayogerwako mu kiseera ky’okuwa ensala.

Mabiriizi yali ayagala n’okukunya Muhoozi butereevu kyokka n’ataweebwa mukisa. Mabiriizi era awakanya ekya Kkooti ya Ssemateeka okugaana okumuwa obukadde 20 ezaalagibwa okuweebwa bannamateeka n’atazifuna olw’okuba talina bbaluwa emukkiriza kuwoleza mu kkooti. Agamba nti yeewolereza nga munnamateeka omulala yenna era yateekamu ssente ze era ayagala bamuliyirire.

Eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bakigeraageranya n’ekikolwa kya Pulezidenti Idi Amin eyeerangirira okubeera pulezidenti obulamu bwe bwonna era n’aggyawo n’okulonda. Pulezidenti Museveni ng’eyali aganyulwa obutereevu mu kuggya ekkomo ku myaka, kyali kikyamu okukkiriza okuyisa etteeka ng’akyali mu ntebe.

Yandisoose kuwaayo buyinza okukakasa nti yali teyeeyisiza tteeka limukwatako yekka. Abawaabi bagamba nti ebyafaayo bya Konsitityusoni ya Uganda byogera ku bumu, omwenkanonkano, enfuga ya demokulasiya n’enfuga y’amateeka era nga byonna tebyagobererwa.

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga bakimussaako nti ebiwandiiko bye yaweereza Pulezidenti Museveni byaliko ebbaluwa enkyamu eya certificate of Financial Implication eyaliko ennaku z’omwezi ezaali zikyusiddwa.

Waliwo n’ababaka abamu be bagamba abaggyibwako omukisa gw’okukiikirira abantu baabwe kuba baagobwa ng’ebula olunaku lumu okulonda kubeerewo. Kwaliko; Ibrahim Ssemujju Nganda, Allan Ssewanyana, Gerald Karuhanga, Jonathan Odur, Anthony Akol ne Mubarak Manyangwa.

Erias Lukwago, munnamateeka w’ababaka agamba nti ebbago ly’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti kyakukusibwa okuteekebwa ku biteeso ebyalina okuteesebwako nga December 20, 2017. Obuyinza bw’ebintu ebirina okuteesebwako bwa Business Committee era tekyayisibwayo nga bwe kirina okuba mu mateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo