TOP

Eby’ettaka ly’e Garuga biranze

By Benjamin Ssebaggala

Added 17th April 2019

Eby’ettaka ly’e Garuga biranze

Kap2 703x422

Ssemwogerere

EBY’ETTAKA ly’e Garuga byongedde okulanda, akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka bwe kayise akola ku nsonga z’abafu annyonnyole engeri gye yagabanya ettaka mu bazzukulu b’omugenzi Daudi Kasimbazi.

Kino kiddiridde aba famire eno abaakulembeddwa Caster Semwogerere okugenda mu kakiiko ne bategeeza Omulamuzi Catherine Bamugemereire nti tebaamatira ngeri nsonga z’ettaka lino gye zaakwatibwamu. Ebiwandiiko ebyatwaliddwa mu kakiiko biraga nti ettaka lyali ku MRV 152 Folio 12 mu mannya ga Daudi Kasimbazi. Ono yafa 1959 ekiseera kino waliwo omwana w’omugenzi omu yekka Getrude Nakiyimba 80.

Ettaka ly’erimu abantu 19 abalituddeko beekubira enduulu mu kkooti Enkulu mu Kampala mu 2014 ku musango ogwali ku nnamba 207/2014. Gwawulirwa Omulamuzi Andrew K. Bashaija era yawa ensala nga December 22, 2017.

Abaawaaba kuliko Geofrey Kitakule, Paul Bagyenda, George Muwanga, Samuel Muhanguzi, Willington Nabwana, Moses Atwine, Watoto Church, Anne Ocho Rwego, Sophy Nantongo n’abalala nga baawawaabira Getrude Nakiyimba, Faridah Namirembe Namusisi, Joseph Kanaabo ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Omulamuzi Byabashaija ng’awa ensala yategeeza nti abaawaaba be baali bannanyini ttaka abatuufu n’alagira aba famire ya Kasimbazi okuzzaayo ebyapa bye baalina mu minisitule y’ebyettaka Kaminsona abisazeemu.

Ssemwogerere bwe yabadde mu kakiiko ku Mmande yategeezezza nti bwe baali bagoba ku byapa, abakola ku nsonga z’okubawa ebyapa ku disitulikiti e Wakiso baabasaba ekyogyamumiro kya kawumbi kalamba n’obukadde 700 bwe bataazibawa ne babalagira bazzeeyo ebyapa babitereeze kyokka tebaabibaddiza.

Olwaleero (Lwakusatu) akakiiko kayise akola ku nsonga z’abafu akannyonnyole, enkya (Lwakuna) kayise eyali kamisona avunaanyizibwa ku byapa Sarah Kurata naye annyonnyole ebikwata ku ttaka lino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana