TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Basimattuse akabenje k'emimotoka kya kasasiro ekiremeddwa okusiba

Basimattuse akabenje k'emimotoka kya kasasiro ekiremeddwa okusiba

By Musasi wa Bukedde

Added 17th April 2019

WAABADDEWO akasattiro ekimotoka kya kasasiro bwe kyalemeredde omugoba waakyo ne kyagala okuyingirira emmotoka endala ku luguudo lw’e Mpereerwe.

Motoka 703x422

Abantu nga bakuhhaanye okulaba ekimotoka ekyagudde mu mwala e Mpereerwe.

WAABADDEWO akasattiro ekimotoka kya kasasiro bwe kyalemeredde omugoba waakyo ne kyagala okuyingirira emmotoka endala ku luguudo lw’e Mpereerwe.

Ekimotoka kino nnamba UAP 664B kyalemeredde ddereeva naye eyakibuuseemu ku kkubo eridda e Kawempe –Ttula kyokka oluvannyuma kyagudde mu luwonko.

Jane Namusoke omu ku baabaddewo yagambye nti kyavudde ku luguudo lwa Kiteezi ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana nga kiri ku sipiidi kyokka ne kigaana okusiba.

Ddereeva yakubye ehhombe ey’okumukumu n’abantu ne bakuba enduulu era abaakirabye beetegudde ne badduka ne kiyingira oluguudo n’akiweta ng’akizza ku ludda e Kampala.

Ddereeva yabuuseemu oluvannyuma n’akireka nga kiyiringita kyokka ne kiyita mu maaso ga super market ne kigwa mu luwonko ku mabbali g’oluguudo.

Mu maaso gaakyo waabaddewo takisi eyabadde eggyamu abasaabaze kyokka nga baawonye okubatuukako.

Abaserikale baaleese kasiringi eyakisiseeyo ne bakitwala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.