TOP

Bashir bamututte mu kkomera ekkambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

FIELD Marshal Omar El-Bashir embeera eyongedde okumwonoonekera bannamagya abaamuwambye bwe bamuggye mu kasenge mwe babadde bamukuumira ne bamutwala mu kkomera erisinga okubeera ery’entiisa mu Sudan.

Omaralbashir 703x422

Bashir

Ekkomera lino eriyitibwa Kobar, Bashir gy’abadde asibira bannabyabufuzi abamuwakanya era ng’abatulugunya ebitagambika.

Wabula olunaku lw’eggulo we lwazibidde, nga Bashiri atemeza mabega wa mitayimbwa mu kkomera lino omujjudde bannabyabufuzi bazze asiba.

Akaseera kaabadde kazibu mu bulamu bwa Bashir okugasimbagana n’abamu ku bannabyabufuzi bazze asiba ng’abasinga obungi tebalina misango era nga tebalinnyangako mu kkooti kubawozesa.

Abasibe abatono abaategedde ku kusibibwa kwa Bashir mu kkomera lino, baategeezezza bannamawulire nti, wadde bakyali basibe, naye okuleetwbwa kwa Bashir mu kkomera lino bawulira ng'abateereddwa abalya obutaala.

Okusindika Bashir mu kkomera lya Kobar bannamagye baasoose mu lukiiko olw'oku ntikko olwa Military Transitional Council ne basalawo ku kisaana okumukolebwa.

Baasoose kulemwa kukkaanya era ensonga kwe kusalawo ekubweko akalulu. Ku bantu 17 abaalonze 13 baasazeewo nti Bashir yeetaaga kukuumirwa mu mbuzekogga.

Ku Lwokubiri ekiro mu ttumbi, Bashir eyabadde ali mu tulo nga yeebase baamuzuukusizza ne bamulagira okwambala engoye ne bamutwala mu kkomera lye Kobar erisangibwa mu kibuga Khartoum wakati mu bukuumi obw’amaanyi.

Okuva lwe yaggyibwa mu buyinza nga April 11, abadde akuumirwa mu kisenge ekimu ekibadde mu lubiri lw’obwapulezidenti ekikuumwa obutiribiri abaserikale ekiseera kyonna.

Ekiseera ekisinga abadde akunyizibwa nga bamubuuza ku bintu bingi ebikwata ku gavumdenti ye gyabadde akulembera.

EBIKWATA KU KKOMERA LYA KOBAR

Ekkomera lya Kobar Maximum Security Prison lisangibwa mu kibuga ekikulu ekya Khartoum nga lyazimbibwa Gavumenti y’abafuzi b’amatwale eya Bangereza.

Kyokka Bashir bwe yajja mu buyinza yaddamu n’alizimba okutuukana n'ebigendererwa bye ng’okutulugunyizaamu abamuvuganya.

Okusooka lyali lyakusibiramu abantu abaawakanyanga obufuzi bw’amatwale, kyokka mu kiseera kino oyinza okuliyita mpaawo atalikaaba kuba likaabizza bannabyabufuzi n’abakulembeze b’ebibiina by’obwogassi ku mitendera egy'enjawulo.

Ebisenge by’ekkomera lino bigumu nnyo nga tewali musibe ayinza kwetantala kutoloka ne bwe wabeera tewali bakuumi.

Lyazimbibwa kulubalama lwa mugga era lyetooloddwa emmundu eza buli kika kw'ossa kkamera eziraba n’akawuka akatambula.

Buli lw'oyogera ku kkomera lino mu Sudan bangi bamera olutiko olw’ebizibu enkumu bye balifuniddemu.

Abakyala n’abaana b’abasibe abaasibirwa mu kkomera lino essuubi ly'okuddamu okulaba ku bantu baabwe lyali lyabaggwaamu.

Bangi ku basibe mu kkomera lino Bashir ye yabasindikayo ng’abalanga okumuwakanya mu byobufuzi.

Bangi balindiridde kuwanikibwa ku kalabba oluvannyuma lw’okusingisibwa emusango ky’okulya mu nsi olukwe nga Abdel Aziz Usher, ate abalala Bashir abadde asalawo battibwe nga tebawozezza.

Ng’Abaganda bwe bagamba nti gy'otega amaggwa gye bakuzza ne Bashir yalabiddaawo nga gy'abadde asindika banne ate naye gye bamututte nga talina bugaaniro.

Omusibe bw'abeera mu kkomera lino ssi kyangu kufuna bagenyi bamulambula olw’amateeka amakakali agassibwawo.

Omugenyi takkirizibwa kwogera na musibe butereevu ateekeddwa kwogera ng’ayita mu muserikale era omusibe by'ayogera n’omugenyi byonna biwandiikibwa ne bissibwa ku fayiro y’omusibe.

Abamu ku bannabyabufuzi Bashir be yasiba n’abasindika mu kkomera lino b’asanzeeyo kuliko; Sadiq al Mahdi (yalondebwako ku bwapulezidenti), Ali Osman Taha ne Mulana Mohamed Osman al Mirghani.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.