TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Bannamagye abaawambye Bashir bagobye Ssaabalamuzi

Bannamagye abaawambye Bashir bagobye Ssaabalamuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

Bannamagye bapondoose ne bagoba Ssaabalamuzi n’omuwaabi omukulu owa Gavumenti basobole okukakkanya abeekalakaasi.

Soudanarmy 703x422

Omukutu gwa Al Jazeera gwategeezezza nti, olukiiko lwa bannamagye olwa 'Transitional Military Council' lwagobye Omar Ahmed Mohamed Abdel Salam abadde omuwaabi omukulu owa Gavumenti era nga y’akulira leediyo ne ttivVi y’eggwanga.

Baamusikizza Sid Ahmed Mahmoud. Murtada Abdullah Waraq yalondeddwa ku bwa Gavana bw'ekibuga Khartoum ate Yahiya Altybe Abu Shora yaweereddwa obwa Ssaabalamuzi.

Abeekalakaasi babadde bamaze ennaku nga basaba abakungu abaagobeddwa okuggyibwa mu bifo bye balimu basobole okuvunaanibwa emisango gy’okujoonyesa abantu ku mulembe gwa Omar el-Bashir.

Abakungu abaagobeddwa boolekedde okusimbibwa mu mbuga z'amateeka beewozeeko ku misango gye babalumiriza omuli okutulugunya n’okunyaga ebyobugagga by’eggwanga awatali abakuba ku mukono.

Amerika eyongedde abeekalakaasi amaanyi bw'evuddeyo n’etegeeza nti nneetegefu okuggya Sudan ku lukalala lw’ensi eziwagira ebikolwa by’ekitujju singa amagye gawaayo obuyinza mu mirembe eri abantu baabulijjo.

Amawulire ga Reuters gaategeezezza nti galina omukungu wa Amerika gwe gaabadde googedde naye n’abakakasa nti kye beetaaga mu kiseera kino ye Gavumenti ekulemberwa abantu baabulijjo kuba n’abeekalakaasi kye bettanira.

Mu kiseera amagye we gaawambidde Bashir, Amerika yabadde esuubizza okuddamu okwetegereza eky’okuggya Sudan ku lukalala luno ku nkomerero ya April.

“Kikulu nnyo okussa ekitiibwa mu kwagala kw’abantu, abantu be Sudan bakkirizibwe okufuna obukulembeze bwe baagala", omukungu wa Amerika ataayatuukiriziddwa bwe yagambye.

Abeekalakaasi ebigambo bya Amerika olwabagudde mu matu ne bategeeza nti tebagenda kuzikiza wadde okudda emabega okutuusa ng’ebintu byonna bye basaba bikoleddwaako awatali kulekayo wadde ekimu.

Ebirala bye baagala mulimu ekibiina ky’abadde Pulezidenti, Omar el-Bashir ekya National Congress Party (NCP) kisattululwe era kireme kukkirizibwa kwetaba mu kulonda kwonna okunaategekebwa.

Abanene ba NCP bonna baagala baggalirwe n'ebyobugagga byabwe biboyebwe kuba bigambibwa okuba nga baabifuna mu makubo makyamu.

Gavumenti y’ekiseera ey’abantu baabulijjo bannamagye balina kubeeramu n’abakiise era basattulule n’olukiiko lwa 'Transitional Military Council' olufuga eggwanga mu kiseera kino.

Mu kiseera kino enteeseganya zikyagenda mu maaso wakati w’obukulembeze bwa bannamagye abakulirwa Lt. Gen. Abdel Fattah Abdelrahman awamu n’abakulembeze b’ekibiina ekigatta abakozi ab'enjawulo ekya 'Sudanese Professionals Association' (SPA).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana