TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ogw’abagambibwa okutta omwana ne bamuziika gujulidde

Ogw’abagambibwa okutta omwana ne bamuziika gujulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

KKOOTI e Wakiso eyongezzaayo okutuusa nga May 8, 2019 lw’enaddamu okuwuliriza omusango gw’abagambibwa okutta omwana ate oluvannyuma ne bamuziika mu nkukutu.

Genda1 703x422

Geoffrey Kawunde (ku kkono), Joel Kikuuno ne Cotilda Namakula abagambibwa okutta omwana bwe baali mu kkooti e Wakiso gye buvuddeko.

Kino kyaddiridde omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Emily Ninsiima obutalabikako olw’olusirika lw’abawaabi ba Gavumenti olugenda mu maaso.

Cotlida Namakula 68, Samewo Kiwanuka 34, Joel Kinalwa Kikuuno 33, ne Geoffrey Kawunde 38, be bavunaanibwa omusango gw’okutta omwana, Emmanuel Wasswa 15, oluvannyuma omulambo gwe ne baguziika mu nkukutu.

Ku kkooti eggulo, embeera yabadde ya kimpowooze ng’abavunaanibwa mu musango guno tebaaleteddwa ku kkooti okuva e Kigo gye baasindikibwa.

Omulamuzi wa kkooti ento e Wakiso, Esther Nakadama mu lutuula lwa kkooti olwaliwo nga April 3, 2019, yawalirizibwa okwongezaayo omusango okutuusa nga April 17, 2019 oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okumutegeeza nga Gavumenti bw’ekyanoonya obujulizi obulumika abavunaanibwa.

Jjajja wa Wasswa, Namakula ne batabani be basatu ne muwala we atannakwatibwa be bagambibwa okutulugunya Wasswa mu bukambwe okutuusa lwe baamutta oluvannyuma omulambo gwe ne baguziika mu nkukutu.

Kigambibwa nti ono yasooka kusibwa ku muti n’emiguwa oluvannyuma ne bamusiba bbulooka ku busajja bwe olwo ne batandika okumukuba okutuusa lwe baamutta.

Abatuuze baategeeza nti Wasswa baamukuba nga bamuteebereza okubba essimu y’omu ku batuuze ne 2000/= era bwe yegaana, jjajja we kwe kuduumira batabani be nga bakulembeddwaamu Kawunde ne batandika okumukuba.

Ettemu lino lyaliwo nga February 16, 2019 ku kyalo Bbaale mu Ggombolola y’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Vo1 220x290

Museveni azzeemu okulabula abali...

Museveni azzeemu okulabula abali b'enguzi

Tap13 220x290

Omujaasi abadde atambuliza emmundu...

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...