TOP

Bannamagye balambudde pulojekiti za KCCA

By Hannington Nkalubo

Added 18th April 2019

BANNAMAGYE ku madaala agaawagulu balambudde pulojekiti za KCCA ez’enjawulo omubadde n’ekisenge ekirimu kkamera ezikuuma ekibuga Kampala okulaba engeri gye zikolamu.

Lambula 703x422

Baasoose kusisinkana akola nga dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka abadde n’omumyuka we Samuel Sserunkuuma, akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine n’abalala mu City Hall.

Bannamagye baabuuzizza ku ngeri KCCA gy’ekolamu emirimu gyaayo naddala akalippagano k’ebidduka, enkaayana z’ettaka engeri gye zigonjolwamu ate n’enkulaakulana eriwo mu kibuga basobodde batya okugituukako.

Kitaka yabasomesezza olugendo KCCA lw’ezze etambula n’abategeeza nti ku kalippagano k’ebidduka mu kibuga bakozesa kkamera okukamalawo.

“Tusobola okulaba amasang'anzira 13 mwe tutadde kkamera nga tukozesa abakugu baffe wano mu KCCA.

Tulina abantu baffe abalina empuliziganya ku nguudo ezenjawulo era kati tusobola okulaba ekifo awakutte obulippagano obunene ne tukolagana n’abaserikale ku nguudo ne tubumalawo,” Kitaka bwe yagambye.

Ku ttaka n’okutegekera Kampala, Moses Atwine yabategeezezza nti KCCA yayimiriza okuwa omugagga yenna pulaani alina poloti esangibwa mu lutobazzi.

“Poloti ezirina ebyapa ebyalangibwa mu mawulire nti biri mu lutobazzi bisazibwemu twabissaako ekkomo tewali kubiwa pulaani.

Tukolera wamu ne NEMA era ensonga tuzikute bulungi,” Atwine bwe yagambye.

Atwine yategeezezza nti wadde Gavumenti eyinza okuba nga ye yalanga poloti ezo naye KCCCA ye yasaawo akazito.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...