TOP

Omukulu w'ettendekero awonye okwokebwa abayizi

By Paddy Bukenya

Added 18th April 2019

POLIISI yeezoobye n’abayizi b’ettendekero lya Katonga Technical Insititute ababadde bagezaako okwokya akulira ettendekero mu ofiisi ye lwa kubamma byava mu bigezo byabwe n’okubasuza ku ttaka ng’ate baasasula ebisale byonna.

Abayiziabegugunzengapoliisiegezaakookubakakkanyawakatiyehajisseganegwetaasizakubayizijpgweb 703x422

Abayizi abeegugunze nga poliisi egezaako okubakkakkanya. Wakati ye Hajji Sseggane gwe baataasizza.

POLIISI yeezoobye n’abayizi b’ettendekero lya Katonga Technical Insititute ababadde bagezaako okwokya akulira ettendekero  mu ofiisi ye lwa kubamma byava mu bigezo byabwe n’okubasuza ku ttaka ng’ate baasasula ebisale byonna.

Poliisi y’e Kayabwe n’eye Mpigibe basanze ng’abayizi bano bapakidde enku mu mulyango gwa ofiisi ya Principal w’ettendekero lino, Hajji Sulaiman Sseggane nga bagezaako okujiteekera omuliro ne ofiisi y’avunaanyizibwa ku by’ensimbi (Baasa) n’ekuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Oluvannyuma omuduumizi wa poliisi mu Mpigi, Joab Wabwire atuuzizza olukung’aana lw’abayizi n’abakulira ettendekero lino, abayizi ne bamunnyonnyola ebizibu byabwe okuli okubasuza ku ttaka, obutaba na bikozesebwa ebibayambako okubabangula n’obutabawo bivudde mu bigezo byabwe.

Wano DPC Wabwire akakkanyizza abayizi bano era nanenya abaddukanya ettendekero obutawuliriza bizibu bya bayizi ekiyinza okuvaako obutali butebenkevu. Asabye Hajji Sseggane okukola ku nsonga z’abayizi embeera edde mu nteeko.

Haji Sseggane ategeezezza nti wadde ng’embeera y’abayizi teyeeyagaza naye nabo tebanasasula bisale bya ssomero era n’abagumya nti ebyava mu bigezo byakukolwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabiriziwemukonojameswilliamssebaggalanabamukubasumbanabaweerezangabatuukakukkanisawebuse 220x290

Abakkiriza b’ekkanisa ya Uganda...

Abakristaayo mukulembeze okuteekateeka okukuza abaana kubanga y'ekkanisa ey'enkya basobole okutambuza obusumba...

Whatsappimage20191122at145535 220x290

Amataba gasazeeko enkulungo y'oku...

Enkuba efudembye mu Kampala n'emiraano mu budde bw'amalya g'ekyemisana egootaanyizza entambula ku nkulungo y'oku...

Mosesmagogo 220x290

Ebya Moses Magogo bibi!

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying....

Novena11 220x290

Klezia etegese okusabira abalwadde...

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena...

Film1 220x290

Embooko z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...