TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bbaasi ya Watoto ekoze akabenje n'erumya abaana 50

Bbaasi ya Watoto ekoze akabenje n'erumya abaana 50

By Paddy Bukenya

Added 18th April 2019

BBAASI ya Watoto ebadde ettise abaana abasoba mu 50 nga bagenda okusaba egudde ku kabenje ku luguudo lw’e Masaka abaana 27 ne bamenyeka n’okufuna ebisago ebyamaanyi abalala ne balumizibwa. Bbaasi eno ya baana ab’ekifo ekikuumirwamu abaana abatalina mwasirizi ekya Watoto e Nakirebe mu Mpigi. Ebadde egenda Kampala ku kkanisa ya Watoto ku Lwokuna ku makya mu kkoona ly’e Nsimbi ku lw’e Masaka n’egwa ne yeefuula okukkakkana ng’abaana 27 bamenyese n’okufuna ebisago ebyamaanyi.

Watoto2copy 703x422

BBAASI ya Watoto ebadde ettise abaana abasoba mu 50 nga bagenda okusaba egudde ku kabenje ku luguudo lw’e Masaka abaana 27 ne bamenyeka n’okufuna ebisago ebyamaanyi abalala ne balumizibwa.

Bbaasi eno ya baana ab’ekifo ekikuumirwamu abaana abatalina mwasirizi ekya Watoto e Nakirebe mu Mpigi. Ebadde egenda Kampala ku kkanisa ya Watoto ku Lwokuna ku makya mu kkoona ly’e Nsimbi ku lw’e Masaka n’egwa ne yeefuula okukkakkana ng’abaana 27 bamenyese n’okufuna ebisago ebyamaanyi.

Bbaasi eno nnamba UAQ 389Z eremeredde ddereeva waayo Emmanuel Sekabira n’atomera omukutu ogutwala mukoka olwo n’egwa ne yeefuula era abaana bonna abaagibaddemu 50 ne bakosebwa.

 

 akayima yamenyese omukono ngali mu bulumi Nakayima yamenyese omukono ng'ali mu bulumi

 

 

Okusinziira ku batuuze ababaddewo nga bbaasi eno egwa baategeezezza nti, yatagadde n’eva ku ludda kw’erina okubeera n’erumba mmotoka ezibadde ziva e Kampala olwo n’erumba essundiro ly’amafuta erya Gasline olwo n’egwa mu mwalo ne yeefuula.

Poliisi n’abasawo b’eddwaaliro lya Watoto baaleese ambyulensi ne baggyawo abaalumiziddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Baby Watoto Health Centre gye baggyiddwa ne babongerayo ku ddwaaliro lya Case Clinic e Kampala.

Ku baalumiziddwa ennyo kuliko; Catherine Mutesi, Patricia Acen, Mouren Katono, Arthur Mubiru, Christian Ssekaayi, Emma SSekabira, Agatha Mirembe, Cathy Kisakye, Owen Mugisha, Fortunate Namara, Andrew Kimbugwe, Fortunate Namazzi, Godon Otimigugin, Yvonne Nakayima n’abalal.

Omuduumizi wa poliisi y’ebidduka mu Katonga Angeyo agambye nti akabenje kaavudde ku ddereeva okuvugisa ekimama mu kkoona ng’ate attise nnyo era n’alabula baddereeva okwegendereza ekkoona lino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana