TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kalidinaali Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe mu bubaka bw'amazuukira

Kalidinaali Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe mu bubaka bw'amazuukira

By Ponsiano Nsimbi

Added 18th April 2019

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe n’ategeeza nti, talina kimuluma kyonna okuggyako obukadde.

Cardinal 703x422

Kalidinaali Emmanuel Wamala ng'ayogera obubaka bwe obw'amazuukira ga Yezu

Bino yabyogeredde mu maka g’e Nsambya bwe yabadde awa obubaka bwe obwamazuukira ku Lwokusatu.

Yasoomoozezza abalowooza nti, obutalabika bwe mu bantu mulwadde n’agamba nti talina yadde awamuluma okuggyako obukadde n’emyaka gye yeebaliza Katonda.

Yagambye nti abaagala okumulaba bamusange mu maka ge era abagendayo bamulaba.

“Nze siri mulwadde wabula maanyi ge matono nze n’awummula abalina amaanyi ka bakole”, Kalidinaali bwe yategeezezza.

Yagambye nti Amazuukira ga Mukama waffe Yezu Kristu lwe lunaku olusinga obukulu mu nnaku endala zonna n’asaba buli muntu okuzuukirira awamu ne Kristu mu mpisa ennungi n’okuzza obuggya ebikolwa byaffe.

Yasiimye Paapa Francis olw’okulonda Msgr. Serverus Jjumba okubeera Omusumba omuggya ow’Essaza ly’e Masaka ng’adda mu bigere by’Omusumba John Baptist Kaggwa eyasaba okuwummula.

Yagambye nti mu buweereza bwa Klezia obw’enjawulo mulimu okuwummula era ne yeebaza Bp. Kaggwa olw’emirimu emirungi gy’akoledde essaza lye ne Klezia yonna.

Yasuubizza nga bwe bagenda okukolaganira awamu n’Omusumba omuggya n’asaba n'Abakristu okubeera abawulize gy’ali.

Yakomekkerezza obubaka bwe n’okwagaliza Pulezidenti Museveni ne famire ye, Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi, Nnaabagereka Sylivia Naginda, Ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga, abasosorodooti bonna n’abakkiriza okuyita obulungi mu mazuukira nga Kristu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...