TOP

Gavt. ereeta etteeka ku mobile money

By Muwanga Kakooza

Added 18th April 2019

GAVANA wa Bbanka Enkulu mu Uganda, Emanuel Tumusiime Mutebile agambye nti, Gavumenti egenda kuleeta etteeka ku nkozesa ya ‘mobile money’.

Pros 703x422

Mutebile era akubirizza abantu abali mu SACCO okutandika okuzeeyambisa okubaako emirimu egy’awamu gye zikola ng’okulima n’okukola ebintu ebirala ebivaamu ensimbi mu kifo ky’okuleka bammemba baazo ssikinnoomu okuterakayo n’okuyisibwamu ssente z’okwewola.

Bino Mutebile yabyogeredde Jinja mu lukuhhaana lw’okusomesa abantu enkola ya bbanka Enkulu.

Mutebile yagambye nti etteeka lya ‘National Payments Systems’ eriri mu bubage ligenda kuwa Bbanka Enkulu obuyinza obwetongodde okulondoola enkola ya ‘mobile money’.

Bbanka Enkulu ebadde erondoola ebya ‘mobile money’ ng’ekolagana n’ekitongole ky’ebyempuliziganya ekya ‘Uganda Communications Commission’.

Ku nsonga za SACCO, Mutebile yagambye nti kati bammemba bazikozesa nga bbanka.

Kyokka yagambye nti SACCO zisobola okweyambisibwa mu ngeri endala bammemba ne bafunamu nnyo nga beeyambisa kapito ow’awamu ebibiina gwe biba nazo ne bimussa mu bibazimbira awamu nga batandika emirimu egikola ensimbi ng’okulima.

Yagambye nti ebibiina bisobola okwanguyirwa okwewola ssente okukola bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...