TOP

Eyali Pulezidenti yeekubye essasi ye yetta

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

EYALI Pulezidenti wa Peru, Alan García 69, yeekubye essasi ne yetta poliisi bw’ebadde egenda okumukwata ng’emuvunaana okwenyigira mu kulya enguzi.

29243df2f7bc3e5c325b36c37a17a53dc8cb3ab9 703x422

Yettidde mu maka ge mu kibuga Peru ku Lwokusatu.

Agambibwa nti, we yabeerera Pulezidenti wakati wa 2006 ne 2011 yalya enguzi okuva ku kkampuni ya Brazil enzimbi emanyiddwa nga Odebrecht n’eweebwe kontulakiti ezitali zimu.

Pulezidenti wa Peru aliko kati Martín Vizcarra yaweerezza obubaka obukubagiza aba famire y’omugenzi n’agamba nti, naye yabadde anyoleddwa nnyo.

Kigambibwa nti bwe yalengedde aba poliisi ebweru w'amaka ge ne yeekuba amasasi ku mutwe era yatwaliddwa mu ddwaaliro nga biwalattaka ttiimu y'abasawo 27 n'egezaako okutaasa obulamu bwe ne kitasoboka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo